WABADDEWO akasattiro e Kabale loole bw'eremeredde turn man n'etomera omusajja n'emuttirawo.
Arnold Tusiime 32 omutuuze w'e Kirijime Central cell , South division e Kabale, y'agabibwa okuttibwa Fuso Fighter namba UBE 861 C ebadde evugibwa Gerald Tusiime 34.
Kitegeezeddwa nti ono, abadde agezaako okugitokosa nga bw'agipikamu omukka , mmotoka n'eteguka n'etomera Tusiime n'emuttirawo.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Maate, alabudde ba dereeva okwewala okugabira abantu abalala emmotoka.
Mu ngeri y'emu era poliisi e Rukungiri, ebuuliriza ku kufa kw'omwana ow'emyaka 10, Benedicto Gumisiriza owa Mutariga P/S era ng'abadde mutuuze w'e Nyamubogore cell mu muluka gw'e Nyeibingo e Kebisoni Rukungiri , asangiddwa mu nnimiro y'emmwanyi nga mufu.