Amawulire

Abagambibwa okutigomya Matugga bayooleddwa

ABEBYOKWERINDA bayoodde abavubuka 11 e Matugga mu munisipaali ye Nansana nga bano bateberezebwa okubeera abamu ku bubinja obuteega n'okukola obulumbaganyi ku batuuze.

Poliisi ng;eraga abavubuka abakwatiddwa
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision
ABEBYOKWERINDA bayoodde abavubuka 11 e Matugga mu munisipaali ye Nansana nga bano bateberezebwa okubeera abamu ku bubinja obuteega n'okukola obulumbaganyi ku batuuze.
 
Abakwate basangiddwa mu kibangirizi ekyekusifu nga balina makansi,ebbaafu y'enjaga ne birala nga bangi olwa labye abebyokwerinda ne bagezaako okwemulula okudduka kyokka ne bakwatiba.
Ab'ebyokwerinda nga bayoola abavubuka

Ab'ebyokwerinda nga bayoola abavubuka

wabula abakwatiddwa bakirizza okubeera nga banywa enjaga kyokka ne begaana okwenyigira mu bumenyi bwa mateeka nebategeeza nga enjaga na mayirungi bwebibayamba okwelabira ebizibu byabwe kuba bangi basengulwa okuva kunguddo nga kati enjaga yebabesabesa!!
 
Ekikwekweto kino kyaddiridde okwemulugunya okuva mu batuuze nga balumiriza abavubuka okugumba mu kifo kino ne bateega abayitawo omuli okubasikako obusiimu,okubabba ne birala ne basaba poliisi ebayambe kuba basula ku butaakye.
Poliisi ng'eraga byesanze n'abavubuka

Poliisi ng'eraga byesanze n'abavubuka

 
RDC wa Nansana Charles Lwanga omu ku babaddewo nga ekikwekweto kino kikolebwa yakukulumidde abavubuka okusiiba mu biragala byagamba nti biviriddeko bangi okwenyigira mu bumenyi bwa mateeka omuli n'okukwata abakazi.
 
Lwanga yasoose kusomesa bavubuka bano obuvunanyizibwa bwabwe eri eggwanga n'okubajjukizza okwetanira pulojekiti za gavumenti basobole okuyimirizaawo famire zabwe era wano bangi webasabidde ekisonyiwo ne bategeeza nga bwebavudde mu bumenyi bwa mateeka.
 
bano batwaliddwa ku poliisi e Matugga okwongera okukunyizibwa ku missoni ezenjawulo ze bazze baluka n'okutuusa obulumbaganyi ku batuuze
Tags: