Poliisi ewadde ebiragiro ku ntambula n’ebyokwerinda bya ttiimu

Ng'ebula ennaku 4 empaka za CHAN zitandike mu Uganda, poliisi y’ebidduka eraze amakubo aganaayitwamu ttiimu engenyi n’abakungu ab'enjawulo okuva mu mawanga amalala.

Poliisi ewadde ebiragiro ku ntambula n’ebyokwerinda bya ttiimu
By Basasi ba Bukedde
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #CHAN #Mupiira

Ng'ebula ennaku 4 empaka za CHAN zitandike mu Uganda, poliisi y’ebidduka eraze amakubo aganaayitwamu ttiimu engenyi n’abakungu ab'enjawulo okuva mu mawanga amalala.

Emapaka zino zitandika nga August 2 e Tanzania wabula mu Uganda zaakutandika nga August 4 nga Cranes ettunka ne Algeria mu kisaawe e Namboole. 

Michael Kananura Ng'annyonnyola.

Michael Kananura Ng'annyonnyola.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi y’ebidduka, Michael Kananura yategeezezza nti abagenda okusula e Munyonyo bwe banaaba bava ku kisaawe e Ntebe, baakuyita ku Ntebe Express way baviireko e Kajjansi okuyita ku Kampala Southern Bypass.

Yannyonnyodde nti abagenda ku Serena ne Mistil Hotel bwe bava e Ntebe baakuyita ku Ntebe Express Way, Northern Bypass okutuuka ku nkulungo y’e Kalerwe, Mulago ku Bbiri, Yusufu Lule okutuuka ku nkulugo ya Nakummati. 

Wano abagenda ku Serena Hotel we bambukira ate aba Mistil Hotel bayite ku bitaala bya Jinja Road okugenda e Nsambya.

Abateebi Ba Cranes, Ivan Ahimbisibwe Ku Kkono Ne Jude Semugabi E Lugogo

Abateebi Ba Cranes, Ivan Ahimbisibwe Ku Kkono Ne Jude Semugabi E Lugogo

Aba 4 points Hotel baakuyita ku Fair way okugenda e Kololo. Speke Resort Munyonyo, Skyz Hotel e Naguru, Serena Hotel, 4 Points ku Sheraton, Mestil Hotel e Nsambya ze zimu ku zigenda okusuza abagenyi n’abazannyi.

Kananura ayongerako nti okugenda ku bisaawe okutendekebwa ku Kadiba e Mengo, e Namboole, Kyambogo, Wankulukuku ne KISU e Bukoto baakukulemberwa mmotoka za poliisi nga n’abakuuma ddembe baziwa obukuumi.

Yasabye abantu okugoberera amateeka. Mu ngeri y’emu, eggulo omutendesi wa Cranes, Morley Byekwaso yayungudde ttiimu y’abazannyi 25 abagenda okuzannya empaka zino (CHAN). Buli ttiimu erina okuwaayo abazannyi baayo 25 mu CAF okubafunira layisinsi.