Ebyemizannyo

Tetufunanga ssente za Masaza Cup - Buweekula

N’OKUTUUSA kati abakungu ba ttiimu y’essaza lya Buweekula bakyebuuza ekikyabalemesezza okufuna ssente ze baawangula nga batutte ekikopo ky’Amasaza ga Buganda omwaka oguwedde. 

Tetufunanga ssente za Masaza Cup - Buweekula
By: Hussein Bukenya, Journalists @New Vision

N’OKUTUUSA kati abakungu ba ttiimu y’essaza lya Buweekula bakyebuuza ekikyabalemesezza okufuna ssente ze baawangula nga batutte ekikopo ky’Amasaza ga Buganda omwaka oguwedde.

Maneja wa ttiimu eno, Hajji Rajab Ssebulime yategeezezza nti baalina okufuna obukadde 12 eziweebwa omuwanguzi ekitannakolebwa. Buweekula yakuba Ssingo ggoolo 1-0 ku fayinolo eyayindira mu kisaawe e Nakivubo nga November 1, 2025.

Kabaka Ng'akawasa Aba Buweekulu Ekikopo E Nakivubo

Kabaka Ng'akawasa Aba Buweekulu Ekikopo E Nakivubo

Wabula ssentebe w’empaka zino, Hajji Sulaiman Sejjengo yagambye nti amasaza gonna gaafuna ssente okuggyako Buweekula nga nayo yaakufuna ezaayo obudde bwonna kuba baaginnyonnyola nti bakyalinamu obuzibu mu by’ensimbi.

Rajab yannyonnyodde nti waliwo n’obukadde obulala 5 bwe bataafuna ku zimu ku ssente ezaaweebwa buli ttiimu eyeetaba mu mpaka zino. Ssingo eyamalira mu kyokubiri yafuna obukadde 9 era ssentebe waabwe, Haji Ramathan Muwada yakkirizza nti baazifuna. 

Kyaggwe, eyamalira mu kyokusatu yafuna obukadde 7 ate Bugerere yafuna obukadde 5.Ssentebe wa Bugerere, AndrewSekitto ku bukadde 10 baafunako 5 kyokka bwe baatuukaku ‘quarter’, semi ne fayinolobaafunangayo akakadde kamu kubuli mutendera.

Empaka z’omwaka guno, ziggyibwako akawuuwo mu June w’omwaka guno.

Tags: