Ebyemizannyo

Uganda CupUganda Cup;Abanene bayise wagonvu

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya Startimes Uganda Premier League aba Vipers, bayise wagonvu, akalulu k'oluzannya lwa ttiimu 64 mu Stanbic Uganda Cup bwe kabasudde ku Northern Gateway FC eya ligyoni. Vipers ye yawangula ekikopo kino sizoni ewedde.

Amuli Mukasa owa Football Classroom (ku ddyo) ng'attunka n'omuzannyi wa Lukuli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya Startimes Uganda Premier League aba Vipers, bayise wagonvu, akalulu k'oluzannya lwa ttiimu 64 mu Stanbic Uganda Cup bwe kabasudde ku Northern Gateway FC eya ligyoni. Vipers ye yawangula ekikopo kino sizoni ewedde.
Mu kalulu akaakwatiddwa eggulo ku Protea Hotel mu Kampala, ne ttiimu za liigi ya babinwera endala wadde nga zaakukyala, zaafunye banafu. KCCA erina St George Masindi FC, Express eri ne Pakwach Young Boys, ate NEC FC yaakukyalira Mabira Town Council. Oluzannya lwa ttiimu 64 lwakubeerawo wakati wa February 4-10.
Mu ngeri y’emu, ttiimu y’omukutu gwa Whatsapp eya Football Classroom, akalulu kaagisudde ku Calvary eya 'Super'.
Amyuka omutendesi wa Football Classroom, Joel Muwanguzi 'Man Jo' yagambye nti aba Calvary bajje nga beenywezezza kuba ttiimu gye bagenda okuzannya si nnyangu.
“Calvary tugiwa ekitiibwa wabula nayo ejje ng'enywedde kuba tetugitidde. Abazannyi baffe bali ku ffoomu era mukirabye mu gy’okusunsula,” Man Jo bwe yategezezza.
Calvary y’ekoobedde ku ttebo ya liigi ya 'Super' n’obubonero 4 okuva mu mipiira 14. Football Classroom yaggyeemu ttiimu 4 ez'omu Kampala

Tags: