Ebyemizannyo

Lumala akomyewoLumala

EYALI nnakinku mu kuvulumula mmotoka z’empaka Hajji Moses Lumala eyayatiikirira ennyo mu gy’e 90 ne 2000 akakasizza nga bw’akomyewo mu muzannyo guno.

Emmotoka Ford Fiesta, Lumala mw'agenda okuvuganyiza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EYALI nnakinku mu kuvulumula mmotoka z’empaka Hajji Moses Lumala eyayatiikirira ennyo mu gy’e 90 ne 2000 akakasizza nga bw’akomyewo mu muzannyo guno.
Lumala eyasangiddwa e Mityana mu maka ge, yategeezezza nga mu kusooka bwe yalina okudda e Latvia addemu okubangulwa mu kuvuga mmotoka wabula okufa kwa nnyina ne kugootaanya enteekateeka ze.
Mu kulaga nti mwetegefu okuddamu okuvuganya n’amaanyiyasooka mu mpaka ezaggalawo kalenda y’omwaka oguwedde eza Championship Sprint e Busiika mwe yakwatira ekyokuna.
Mu kudda, Lumala yaleese ne mutabani we, Musa Lumala agenda okutandikira mu za bakyakayiga (autocross) era nga naye yavuga e Busiika mu December w’omwaka oguwedde.
“Nnali sisuubira nti nnaavuga bulungi naddala ng’emmotoka eyo nagitendekebwamu ennaku 8 zokka,” Lumala bwe yategeezezza.
Yakinogaanyizza ng’okukomawo kwe bwe kujjidde mu kaseera akatufu ng’afunye ku bazzukulu n’abamu ku baana abataamulabako ng’avuga mmotoka z’empaka era ayagala n'okukulembera ku FMU. Bino we bijjidde nga Lumala yaakafiirwa maama we eyafiiridde ku myaka 91. Kalenda y’omwaka guno yaakutandikira mu bitundu by’e Mbale nga March 27.

Tags: