Ebyemizannyo

za ‘Internal Club tournament’ zikamudde aba Prostat Sports Academy

ABAZANNYI ba Prostat Sports Academy abeegattira mu kkiraabu ya ‘Flamingo FC ne Juventus FC’ beetisse empaka za ‘Internal Club tournament’ bwe bawangudde ebikopo bya mitendera ebiri buli emu kw’ejo 4 egyavuganyiziddwaamu.

za ‘Internal Club tournament’ zikamudde aba Prostat Sports Academy
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

ABAZANNYI ba Prostat Sports Academy abeegattira mu kkiraabu ya ‘Flamingo FC ne Juventus FC’ beetisse empaka za ‘Internal Club tournament’ bwe bawangudde ebikopo bya mitendera ebiri buli emu kw’ejo 4 egyavuganyiziddwaamu.

 

Zaabadde mpaka ezisookedde ddala okutegekebwa ez’ekikula kino nga zaayindidde ku kisaawe ky’oku Lufula e Gayaza ku Lwomukaaga.

Ttiimu y'abato eyawangudde ekikopo

Ttiimu y'abato eyawangudde ekikopo

Bakira abazadde b’abazannyi bano, abasomesa n’abatendesi ng’entuuyo bazisaza bibatu olw’akasana akaabadde keememula nga bawagira abaana baawe mu mpaka zino.


Zeetabiddwaamu kiraabu 3 (Juventus FC, Flamingo FC ne Valencia FC) mu mitendera okuli; abatasussa myaka 7, 9, 10 ne 14. Flamingo yawangudde omutendera gw’abatasussa myaka 7 ne 9 ate Juventusa n’etwala ogwa 10 ne 14.


Mu batasussa myaka 7, Flamingo yawangulidde ku penati (3-1) ng’ekuba Juventus ku fayinolo oluvannyuma lw’okulemagana (0-0) mu 90. Ate eky’abatasussa myaka 9 Flamingo yamezze Valencia (3-0) ku fayinolo.


Mu batasussa 10, Juventus yakubye Valencia (2-0) ku fayinolo, n’emegga Flamingo 2-1 ku fayinolo y’abatasussa 14.

Ttiimu ya Prostat

Ttiimu ya Prostat


Ddayirekita wa Prostat Sports Academy, Richard Mugerwa yategeezezza nti empaka zino zaakubeerangawo buli mwaka n’ekigendererwa oky’okwongera okuwagala n’okwekenneenya ebitone bye bazimba kibasobozese okwongera okusaggulira abo abavuddemu ttiimu ez’amaanyi.


“Ng’oggyeeko, okwetegereza abazannyi, empaka zino tuzeeyambisizza okusunsula abamu ku bazannyi betugenda nabo mu mpaka za DANA Cup ezigenda okuyindira mu Denmark omwaka guno,” Mugerwa bwe yategeezezza.

 

Omwaka oguwedde Prostat Sports Academy bwe yeetaba mu za DANA Cup yamalirira mu kyakusatu, omulundi guno baagala kukiwangula. Bino we bijjidde nga baakakomawo okuva mu Ethiopia gye baawangulidde ekikopo kya Endale Cup bwe baakubye Eyobo Selan Sports Club (2-1) ku fayinolo.

Tags:
Ebyemizannyo
Internal Club tournament’