Ebyemizannyo

South Sudan yeetisse empaka z'omupiira gwa Bamuzibe

SOUTH Sudan yeetisse empaka za bamuzibe eza IBSA Africa blind Football ezisookedde ddala ku lukalu lwa Africa oluvannyuma lw'okukuba abategesi aba Uganda goolo 3-0 mu luzannya olw'akamalirizo olwazanyiddwa ku Hams Stadium e Nakivubo.

Abasudan nga bawanise ekikopo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Uganda 0-3 South Sudan 
SOUTH Sudan yeetisse empaka za bamuzibe eza IBSA Africa blind Football ezisookedde ddala ku lukalu lwa Africa oluvannyuma lw'okukuba abategesi aba Uganda goolo 3-0 mu luzannya olw'akamalirizo olwazanyiddwa ku Hams Stadium e Nakivubo.
Ekitundu ekisooka kiweddeko nga tewali alengedde katimba ka munne nga Uganda egezezzaako okulemesa south Sudan obutagiteeba mu kitundu kisooka nga bwegwali mu mupiira ogwaggulawo bwebaakubwa goolo 3-0 nga zonna zateebwa mu kitundu kisooka.

Abasudan nga babakwasa ekikopo

Abasudan nga babakwasa ekikopo


Mu kitundu ekyokubiri Uganda ekoze enkyukakyuka eziwerako nga esuubira omupiira okuggwera mu maliri bagende mu kusimulagana peneti wabula south sudan efunye peneti nga esigadde edakiika 15 omupiira okuggwa eteebeddwa kapiteeni wa south Sudan Martin lodu.
Nga Uganda egezaako okunoonya goolo ey'ekyenkanyi ate abagenyi baayiyeemu ey'okubiri eteebeddwa Yona Sabri ne lodu n'abongera eyokusatu oluvannyuma lwedakiika bbiri. 
Yadde nga Uganda yakubiddwa omutendesi wa Uganda Ali Zinda yatenderezza abazanyibe olwokwolesa omutindo mu kitundu ekisooka yadde nga byabatabuseeko mu kitundu ekyokubiri.
South sudan yeetisse ebirabo byempaka byonna okwabadde ekyomukwasi wa goolo eyasinze nga kyaweereddwa Charles Bepo ataatebeddwamu goolo yonna mu mipiira esatu nekyeyasinze okuteeba yona sabri eyateebye goolo taano.
Ekirabo kyomuzanyi wempaka eyasinze kyaweereddwa kapiteeni wa south sudan Martin lodu.  


Uganda ne south Sudan zaayiseemu okwesogga ekibinja ekisooka ekya Africa mu mupiira gwa bamuzibe nga wano kyakubanguyira okuyitamu okwetaba mu mpaka zabaliko obulemu ezensi yonna ezigenda okubeera mu amerika mu 2028.
Omuyima wekibiina ekiddukanya omupiira gwabamuzibe munsi yonna El Mountaqi okuva e Morocco alabudde abawanguzi aba south sudan okwesiba ebbiri nga bagenda mu kibinja ekisooka kuba tiimu eziriyo zamaanyi. Ono atenderezza obukodyo obwoleseddwa amawanga ageetabye mu zomwaka guno ezimaze ennaku esatu nga ziyindira mu kampala.

Omupiira gw'abamuzibe

Omupiira gw'abamuzibe


Omukungu wekibina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu ggwanga ekya national parapympic committee Patrick Synole abade mumativu nengeri Uganda gyeyateeseemu empaka zino.
Synole yategezezza nti baakugenda mu maaso nokunoonya ebitone mu bantu abaliko obulemu abanaakiikirira eggwanga mu mizannyo egyenjawulo ku mutendera gwensi yonna.
Tags: