Ebyemizannyo

District ye Gulu yeetisse emizannyo gyabaliko obulemu egimaze wiiki nga giyindira mu kibuga Masaka.

District ye Gulu yeetisse emizannyo gyabaliko obulemu egimaze wiiki nga giyindira mu kibuga Masaka.

Abawanguzu nga bawanika ekikopo
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

ABAWANGUZI
Primary 
1. Isingiro 77 
2. Masaka 50
3. Rukungiri 43

Secondary 
1. Hornby High School (Kabale) 
2. Gulu High School (Gulu) 104 
3. Mvara SS (Arua) 82

University 
1. MUBS 102 
2. Gulu 79 
3. Makerere 56

Community 
1. Gulu 79
2. Nwoya 65
3. Masaka 50

 District ye Gulu yeetisse emizannyo gyabaliko obulemu egimaze wiiki nga giyindira mu kibuga Masaka.
Egyomwaka guno zeetabiddwamu district 22 ezaavuganyizza mu mizannyo 17 nga zaayawulwamu emitendera ena okuli ogwa primary, secondary, university ne community okusinziira ku bulemu.

Abawanguzi nga bali n 'ekikopo

Abawanguzi nga bali n 'ekikopo


Omutendera gwa primary gwawanguddwa district ye Isingiro nobubonero 77 neddirirwa masaka nobubonero 50 ate Rukungiri nekwata ekifo kyakusatu nobubonero 43. 
Hornby high school okuva e Kabale yeetisse eza siniya, MUBS netwala eza university olwo Gulu newangula eza community.
Okuvuganya okwamaanyi kwasinze mu misinde nga eno Masaka yawangudde omutendera ogwa primary nobubonero 267 neddirirwa district ye Isingiro.
Gulu yeetisse omutendera gwa siniya nobubonero 487 nga yasinze Hornby eyamuddiridde obubonero 60 ate Mvara SS nekwata kyakusatu nobubonero 94.
Gulu eza university yeyazeetisse nobubonero 339 neddirirwa MUBS ku bubonero 233 Makerere nejja mu kyakusatu nobubonero 140.
Ekibiina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu ekya National Paralympic Committee kyagabye ebikopo ebisoba mu 100 nemidaali egisoba mu 100 nekigendererwa ekyokusiima buli yeetabye mu mizannyo gyomwaka guno.

Abawanguzi nga bawaga

Abawanguzi nga bawaga


President wekibiina kino Hon. Mpindi Bumaali yasabye abakulembeze ba district okussa mu mbalirira zaabwe omutemwa gwokuyamba ku bantu abaliko obulemu okusobola okubategekera emizannyo egibagattira awamu.
Sipiika wekibuga Masaka Achilles Mawanda eyabadde omugenyi Omukulu yatenderezza abategesi olwokutumbuula embeera zabaliko obulemu nga bayita mu byemizannyo. Emizannyo gino gigenda kukozesebwa okulondamu abazanyi abagenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo gyensi yonna ku mitendera egyenjawulo.
Tags: