FUFA Eduukiridde kiraabu za region n'emipiira gya zakayo 545.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'omupiira mu ggwanga ekya FUFA kiduukiridde kiraabu za region n'emipiira gya zaakayo 545.
Amyuka president wa FUFA ow'okubiri Dr. Azah Taibu yakwasizza ba ssaabawandiisi be region munaana emipiira nga omukolo gubadde ku kitebe kya FUFA e Mengo.
Kaweefube w'okubunyisa emipiira mu Regio ezenjawulo yayisibwa olukiiko lwa FUFA olufuzi nga omugatte kiraabu 109 ezizannya mu liigi za region ezenjawulo zeezakaganyulwa mu nteekateeka eno.
Gyebuvuddeko FUFA yawa kiraabu za UPL 16 neza Big League 16 saako ne kiraabu 12 ezizannya mu liigi yabakyala eya FUFA women super league emipiira egibalirirwamu obukadde 200.