ABAZANNYI ba She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka n’abakungu bagenze e Bungereza n’akamwenyumwenyu ku makatama oluvannyuma lwa Gavumenti okubawa akasiimo ka bukadde 3 n'emitwalo 79 mu 1000/- buli omu.
Eggulo ku Lwokutaano ttiimu bwe yabadde esiibulwa mu butongole ku woteeri ya Cooper Chimney e Lugogo, minisita omubeezi ow’ebyemizannyo mu ggwanga Peter Ogwang eyabadde omugenyi omukulu yalagidde akakiiko akatwala emizannyo mu Uganda aka National Council of Sports (NCS) okuteeka ssente zino ku akaawunti ya buli muzannyi n’abatendesi.
Minisita Ogwang Wakati Ng'akwasa Kapiteeni Wa She Cranes Irene Eyaru Bendera Mu Kusiibula Ttiimu E Lugogo
Mu ngeri y’emu Minisita yagumizza omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa Tabale okusigala nga mugumiikiriza, oluvannyuma lw’emyezi mukaaga ng’akakiiko ak’ekiseera (Normalization Committee) akaddukanya emirimu gy’ekibiina ky’okubaka kamalirizza obuvunaanyizibwa obwakakwasibwa, Gavumenti y’egenda okutandika okusasula omusaala gw’omutendesi.
“Kino kye kiseera buli muzannyi okwolesa omutindo omulungi okusikiriza ttiimu za Bazungu okubatwala ku pulo, mbasaba mukuume empisa, tewabaawo omuzannyi abulira Bungereza ate mubeere bagumu nti Gavumenti erwana okumalawo endooliito mu kibiina ky’okubaka mu ggwanga,” Ogwang bwe yategeezezza.
E Bungereza She Cranes gy’eraze, yaakuggulawo n’ensiike ssatu ez’omukwano nga battunka ne Wales ku Lwokusatu wiiki ejja, ku Lwokuna ne ku Lwomukaaga mu kibuga Cardiff.
Faridah Kadondi Omuzibizi Wa She Cranes.
Oluvannyuma baakusala eddiiro bagende mu kisaawe kya OVO Arena Wembley ne First Direct Arena mu kibuga Leeds gye bajja okuttunkira ne Australia, New Zealand ne Bungereza mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezitandika January 20 zikomekkerezebwe January 28, 2024.
She Cranes yayitiddwa nga ttiimu eng’enyi omulundi ogusookedde ddala okuzannya mu mpaka zino ezeetabwamu ensi essatu ezisinga mu nsengeka z’omuzannyo guno mu nsi yonna (Australia, New Zealand ne Bungereza).
Sandra Ruth Nambirige (ku Kkono) Ne Christine Nakitto.
Mugerwa agamba nti ttiimu gy’asunsudde agyesiga ate bonna bali mu mbeera nnungi, era atunuulidde okufuna wiini ku Australia, New Zealand ne Bungereza okulaba nga Uganda eyongera ku bubonero mu nsengeka.
Abazannyi abagenze kuliko ; Kapiteeni Irene Eyaru, Sandra Nambirige, Christine Nakitto, Margaret Baagala, Christine Namulumba, Shadia Nassanga, Faridah Kaddondi, Sarah Nakiyunga, Lilian Achola, Florence Adunia ne Mercy Batamuliza.
Bano bwe banaatuuka e Bungereza, bajja kwegattibwako Mary Nuba ne Hanisha Muhammed abazannya pulo mu Loughborough Lightning.
Comments
No Comment