Ebyemizannyo

Sam Ssimbwa atabukidde abateebi ba Kitara lwa kwonoona mikisa gya ggoolo

OMUTENDESI wa Kitara FC omuggya Sam Ssimbwa atabukidde abateebi be olw’okwonoona emikisa emingi egyandivuddemu ggoolo ekyaviiriddeko ttiimu yaabwe okusirittuka n’eva mu kifo ekisooka okudda mu kyokubiri.

Sam Ssimbwa atabukidde abateebi ba Kitara lwa kwonoona mikisa gya ggoolo
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

Egyazannyiddwa mu Big League

Jinja North United 1-2 Ndejje University

NEC 1-0 Calvary

Lugazi 1-0 Police

Kyetume 1-0 Kataka

Booma 1-1 Mbarara City

Northern Gateway 0-0 Kitara

Adjumani 3-1 Soroti City

Kiddiridde Kitara okukola amaliri ga 0-0 ne Northern Gateway FC mu mupiira gwabwe ogwagguddewo ekitundu kya sizoni ya Big League ekyokubiri ekyagyiddwaako akawuuwo ku Lwokuna lwa wiiki eno n’emipiira musanvu.

Guno gw’abadde mupiira gwa Ssimbwa gw’asoose okubeera mu mitambo gya Kitara FC bukya agyegattako mu butongole nga February 4, 2023 ng’omutendesi waabwe ng’adda mu bigere bya Mark Twinamatsiko eyakwatibwa ku nkoona olw’ebigambibwa nti yali adibaze ttiimu n’okutemaatema mu bazannyi.

Kitara

Kitara

“Omutindo gw’abateebi gubadde wansi nnyo, obwedda emikisa bazannyiramu mizannyire, siyinza kikkiriza nti Northern Gateway esembye wansi etulemesezza okugiteebamu wadde ggoolo emu bweti, amaanyi ng’enda kugateeka ku bateebi  okubaggyamu omwasi,” Ssimbwa bwe yategeezezza.

Abazannyi ba Kitara abapya okuli; George Ssenkaaba ne Godfrey Lwesibawa baagezezaako okuteekawo emikisa omuva ggoolo naye nga Northern Gateway esibye enkokoto.

Paul Mucureezi omu ku bazannyi abapya teyasobodde tuzannya mupiira guno olwa layisensi okukerewa wabula omutendesi yategeezezza nti ensonga zikolebwako era ensiike eddako bamusuubira.

Tags:
Sam Ssimbwa
Kitara