Kitara 1-0 Kaaro Karungi
Mbarara 3-0 N. Gateway
Kataka 1-4 NEC
Police 1-1 Jinja North
Luweero 0-0 Adjumani
Kyetume 0-0 Soroti City
Ndejje U. 0-0 Booma
Calvary 1-3 Lugazi FC
OMUTENDESI Sam Ssimbwa akomezzaawo Kitara FC mu liigi ya babinywera n'awera nti ttiimu eno tezze kuyisa bivvulu.
Kitara ey'e Hoima, yakubye Kaaro Karungi 1-0 mu guggalawo liigi eno n'esitukira mu kikopo kya Big League ku Lwokuna.
Yabadde nnyo ku mbiranyi ne Mbarara City nga buli emu eyagala kikopo kino kyokka Mbarara yabadde erina okuwangula ate esabirire Kitara ekubwe oba okukola amaliri.
Guno gwabadde gwakufunako muwanguzi wa liigi kyokka Kitara bwe yakuba Adjumani (3-0), Ssimbwa n'agamba nti yakitegeererawo nti agenda kugiyingiza mu 'Super' kuba yakikolako bwe yayingiza Masaka LC.
'Olugendo terubadde lwangu kuba okuvuganya kubadde kwa maanyi nnyo. Ttiimu 4 zonna zibadde n'omukisa okuyingira okutuusa ku mupiira ogusembayo," Ssimbwa bwe yategeezezza nga baakamala okuwangula ekikopo.
Mu ngeri y'emu, pulezidenti wa ttiimu eno, Deo Kasozi agambye nti ku mulundi guno tebazze mu liigi kusiika binyomo wabula bagenda kuvuganya nnyo kuba bagenda kwetegeka nga bwe kisoboka okutuuka ku mutindo.
Abamu ku bazannyi abalina obumannyirivu mu Kitara kuliko, George Senkaaba, Moses Seruyidde, Paul Mucureezi, Dudu Ramathan, Paddy Muhumuza, Jasper Aheebwa n'abalala.
Kitara yaliko mu liigi ya babinywera n'esalwako mu May 2021. Abalala abaayingidde kuliko, Mbarara City eyakubye Northern Gateway (3-0) ne NEC eyakubye Kataka (4-1).
Mu ngeri y'emu Police FC erina kulinda mwaka guddako bwe yalemeddwa okuwangula Jinja North.
Police okuyitawo yabadde yeetaaga wiini eno nga bwesabirira NEC ekubwe.