Bya Hussein Bukenya
KITARA FC yeesimbye mu mutendesi wa SC Villa, Jackson Magera okusikira Sam Ssimbwa eyagyabulidde.
Ssimbwa eyaleese ttiimu eno mu ‘Super’ yagyabulidde nga kigambibwa nti baalemaganye okukwatagana ne bakama be ku nsonga ez’enjawulo.
Ssentebe wa Kitara FC, Deo Kasozi yategeezezza nti ebigendererwa bya Ssimbwa binene okusukka ku Kitara nge tebayinza kumusobola mu kiseera we banaazannyira mu ‘Super’.
Ssimbwa yasikira Mark Twinamasiko mu Kitara. Kasozi yategeezezza nti kati balina abatendesi bataano be batunuulidde okulondako kyokka Jackson Magera gwe basinze okusibirako kuba alaze nti asobola okutendeka omupiira ogunyuma ate nga mulungi mu kuzimba abazannyi.
“Tulina abatendesi 5 be tutunuulidde kyokka twagala nnyo omuntu agenda okutuzimbira ttiimu eneetutuusa ku biruubirirwa byaffe. Magera alina ekitone ekyo naye tulinze tulabe ekiddako kuba wakyaliwo eby’okumaliriza ku nsonga eno,” Kasozi bwe yategeezezza.
Magera yategeezezza nti endagaano ye mu Villa ebulako emyezi ebiri kyokka akyalinze bakama be kye bamugamba kuba baakamala liigi. Ku bya Kitara, yagambye nti baamutuukiridde kyokka tebalina we baatuuse kuba akyali mutendesi wa Villa.
Magera yagambye nti, “Liigi yaakakomekkerezebwa era ndowooza bakama be tewali kibapapya ku bya ndagaano kuba tuli mu luwummula era nsuubira buli kimu kijja kuggwa.” Magera yayambye Villa okumalira mu kyokusatu mu liigi era baatuuse ku lunaku olusembayo nga bakyasobola okuwangula ekikopo.
Ku batendesi abalala Kitara b’etunuulidde kuliko; Edward Golola, Wasswa Bbosa abadde mu Gadaffi, Alex Gitta eyaliko mu Express ne Waksio Giants ne Douglas Bamweyana eyaliko mu Villa ne Express.