Egy’aggaddewo Big League
Mbarara City 3-0 Northern Gateway SC
Kitara 1-0 Kaaro Karungi
Police 1-1 Jinja North United
Kataka 1-4 NEC
Ndejje University 0-0 Booma FC
Kyetume 0-0 Soroti City
Luweero 0-0 Adjuman T/C
Calvery 1-3 Lugazi
PULEZIDENTI wa Kitara FC mu Big League Deo Kasozi asuubizza okukola buli ekisoboka okufunira ttiimu eno abavujjirizi okubasobozesa okuvuganya obulungi mu liigi ya babinywera gye beesoze sizoni eno.
Deo Kasozi
Wiiki ewedde Kitara lwe yakakasibwa mu ttiimu za Big League essatu ezaayiseewo sizoni eno okwesogga ‘Super’. Eggulo lwe baazannye omupiira ogwasembyeyo nga bakuba Kaaro Karungi (1-0) ne balangirirwa ku bwa kyampiyoni bwa sizoni eno nga baakulembedde liigi ku obubonero 58.
Mbarara City FC ku bubonero 57 be baamalidde mu kyokubiri ate National Enterprise Corporation (NEC) mu kyokusatu ku bubonero (55) ze ttiimu endala bbiri ezeegasse ku Kitara okweogga ‘super’ sizoni ejja (2023/2024).
“Twaleeta omutendesi Sam Ssimbwa nga tuzimba musingi ogunaatunywereza mu ‘Super’, kati tumaze okukakasibwa mu liigi ya babinywera sizoni ejja, ng’enda kusaggula abavujjirizi okuyambako ttiimu okufuna obugabirizi obumala,” Kasozi bwe yategeezezza.

Team ya NEC
NEC ESUUZIZZA POLICE
Omulundi gwayo ogusookedde ddala okwetaba mu Big League, ttiimu y’abannamagye eya National Enterprise Corporation (NEC) yataddewo omutindo omulungi n’eyitawo nga ttiimu eyookusatu okwesogga ‘Super’.
Bano okukasibwa mu ‘Super’ kyaddiridde obusungu bwe baalaze mu mupiira ogwasembyeyo nga bakuba Kataka (4-1) ate Police FC bwe baabadde ku mbiranye y’ani ayitawo ani asigala yakoze maliri (1-1) ne Jinja North United.
Omutendesi Angello Lonyesi yalemeddwa okubala obulungi empiki ezikomyawo Police mu ‘Super’ naddala mu mipiira 6 egisembyeyo bw’efunyemu wiini 3, amaliri ga mirundi ebiri n’akubwa gumu. Ate NEC bwe babadde ku mbiranyi y’ekifo ekyokusatu, mu mipiira 6 egisembyeyo efunye wiini 4, amaliri ga mulundi gumu n’ekubwa gumu.
Luweero United yamalidde mu kifo kya 13 n’obubonero 30, Soroti City (28), Adjumani T/C (27) ne Northern Gateway eyakoobedde (19) zonna zaasaliddwaako okuddayo mu liigi ya ligyoni okwetereeza