Okuvuganya mu liigi ya sizoni eno tekubangawo

Abazanyi ba Vipers abakulembedde ekimeeza kya liigi ya Uganda nga bawaga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

LIIGI y’eggwanga (StarTimes Uganda Premier League) buli ttiimu ebuzaako emipiira 2 okuggwa kyokka tetunnamanya agenda kugiwangula. Ng’oggyeeko sizoni ewedde Vipers bwe yagiwangula n’enjawulo y’obubonero obungi.

Yalina 75 ate KCCA eyamalira mu kyokubiri ng’eri ku 56. Ku mulundi guno, okuvuganya kukyali kwamaanyi nga ttiimu 3 buli emu ekyalina omukisa okutwala ekikopo.

KCCA, Vipers ne Villa zirina obubonero 49 nga Vipers okubeera ku ntikko kivudde ku ggoolo ennyingi z’erina. Bwe bigenda bwe biti, liigi yanditwalibwa ku njawulo ya ggoolo kuba buli emu ekulaga nti tewali kuzembeya.

Abakulira liigi, emipiira gino baagitadde mu budde bwe bumu esobole okumalirizibwa obulungi mu kiseera kye kimu. Mu ngeri y’emu, Big League yaggweeredde mu maanyi olwa ttiimu 4 okutuuka ku mupiira ogusembayo nga tetumannyi muwanguzi wa kikopo.

Kitara FC ey’e Masindi, Mbarara City okuva e Mbarara ne NEC ebadde ezannyira e Bugoloobi mu Kampala, ze zaayingidde kyokka ng’olutalo lwabaddemu ne Police FC.
Kitara etendekebwa Sam Ssimbwa, ye yasitukidde mu kikopo kya Big League ate Mbarara City n’emalira mu kyokubiri olwo NEC n’ekwata ekyokusatu.

Ttiimu zonna zaabadde zeesingako akabonero kamu ekiraga okuvuganya okwabadde mu liigi eno era kiwa essuubi nti zigenda kukola bulungi kuba zaalaze nti okuvuganya zikusobola.

Kitara ne Mbarara si mpya mu liigi y’eggwanga. Kitara yalimu mu sizoni ya 2020/21 bwe baayingira ne MYDA ne UPDF wabula liigi yagenda okumalirizibwa nga zombi (Kitara ne MYDA) bazzeeyo wansi. Nneebaza abakulembeze ba Mbarara City okuzza ttiimu eno n’amaanyi kuba we yajjira mu 2006 yalina buli kimu era n’ebeeramu okutuusa we yaddirayo.

Kati ekomyewo na maanyi kuba si kyangu kuddayo ate omwaka oguddako n’okomawo.

Eddiek05@yahoo.com
0705781090/ 0779085702