Ebyemizannyo

Ronaldo si ye yatandikawo Portugal

SITOONI akaddiyidde mu buweereza bw’Ekkanisa. Okuva obuto nga y’asoma ebitundu, asolooza ebirabo, n’okukulembera Abasumba nga bagenda ku kituuti.

Ronaldo si ye yatandikawo Portugal
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

SITOONI akaddiyidde mu buweereza bw’Ekkanisa. Okuva obuto nga y’asoma ebitundu, asolooza ebirabo, n’okukulembera Abasumba nga bagenda ku kituuti.
Olw’obukadde, Sitooni kati asooba mu buweereza, ebitundu bimukaluubirira okusoma kuba ennukuta z’omu Bayibuli takyaziraba, n’Abasumba tebakyayagala abakulemberemu kuba ffeesi ye tekyanyuma, erabisa Ekkanisa nga ey’abakadde! Buli Musumba akendeeza obuweereza bwa Sitooni, afuna obuzibu kuba akwatagana n’Abakulisitaayo ne bamulwanyisa okukkakkana ng’Obulabirizi bumukyusizza. Omusumba yenna omupya okuganja mu Kkanisa eno, Sitooni amala kumukooneramu. Kati Ekkanisa yafunye Omusumba Jesse, atabwekebera. Yasoose kuwa Sitooni buweereza bujjuvu.
Bwe yasoobye ennyo, n’amussa ku katebe. Sitooni yanyiize ne yeekandagga era atiisatiisa obutadda mu Kkanisa eno. Obulabirizi buli mu kattu ku ani gwe buwagira kuba Sitooni mugagga muvundu abuvujjirira, kyokka n’Omusumba Jesse ali ku mulamwa mutuufu oguzimba obuweereza obupya mu Kkanisa.

Cristiano Ronaldo afuukidde Portugal akayinja mu ngatto. Ku myaka gye 41, ayagala atandike buli mupiira ate agumaleko! Ye muzannyi asinga erinnya mu Portugal era ‘FUFA’ yaayo emweguya kuba agiyimirizzaawo mu byensimbi olwa kkampuni ezimulangisa.
Abisse bassita bangi e Portugal nga wadde mukadde, y’ayagala okugiduumira n’okusimula buli kisobyo ekivaamu ggoolo.
Omutendesi Jorge Jesus olwazze ku ttiimu, yamuwa ku Wales n’amuggyamu, n’atamuwa gwa Norway ate ku Denmark teyali ku ttiimu n’omujoozi gwe nnamba 7 gwayambalwa Rafael Leao. Ronaldo yeekandazze era atiisatiisa obutadda ku ttiimu y’eggwanga.
Ronaldo mukyamu okwerowoozaako yekka. W’abeeredde ku mutindo, abisse abazannyi bangi ne baggwaamu amaanyi nga tebayinza kumuzannyako. Ku myaka 41, omutindo tegukyamweyimirira, alina okukkiriza nti akuze takyasaana kuduumira ttiimu.
Talina njawulo na Sitooni, eyakaddiyira mu buweereza bw’Ekkanisa kyokka Abasumba abaagezangako okubukendeeza, n’abaloopanga ku Bulabirizi ne babakyusa. Omusumba Jesse omupya (Jorge Jesus) asaana obugalo olw’okwevaamu n’assa Ronaldo ku katebe.
Portugal okudda ku mutindo, ‘FUFA’ yaayo erina okuwagira Jorge Jesus si kaakuba Ronaldo agivujjirira nnyo ne kkampuni ezimulangisa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: