SHADIA Nassanga Sseggujja, muteebi wa She Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka era yalidde engule y'obuzannyi bw'empaka za Afrika, Uganda ze yawangudde e Kenya. Nnyina, Janet Kalule, abeera Namungoona ng'akolera mu Mukwano Arcade mu Kampala. GERALD KIKULWE yamutuukiridde ku Lwokubiri n'ayogera ku muwala we;
"NASSANGA namunaazanga ekyogero ne nnyongerako Edduwa buli lunaku nga njagala Allah amufuule ensonga mu ggwanga naye nga simanyi nti anabbulukukira mu kubaka. Amaziga ag’essanyu gampitamu buli lwe ndaba Nassanga by’akola mu kubaka. Ssaasooka kumwagaliza muzannyo gwonna olw'okuba omunene ennyo ate nga munafu nnyo, kale nga nneekengera nti singa bamusindika, asobola okugwa obubi. Nalina n'endowooza nti ebintu by’okukakaalukana talibisobola.
Abaana bange mbakuzizza nzekka olwa kitaabwe okufa nga bakyali mabujje. Hajarah Sseggujja, mukulu wa Nassanga, ye yatandiikiriza eby’okubaka, n’afuna ne bbasale mu pulayimale. Oluvannyuma yasendasenda Nassanga era nakola olutalo nga simwagala mu mizannyo. Embooko zaabalya eziwerako olw'obutasiiba waka ng'abeya mu kubaka.

Nassanga (ku ddyo) ne nnyina Janet Kalule.
Naye oluvannyuma nalaba nga be nkuba ate omuzannyo bagulemeddeko. Famire yaffe ya mizannyo; Eyali kapiteeni wa Cranes, Jimmy Kirunda kitange omuto nga ne taata wa Nassanga yali muzannyi wa mupiira. Nsaba Nassanga ansonyiwe wonna we ssaamuyisa bulungi ng’ayiga okuba ate kati njagala kumulaba mu Bazungu ng’azannya pulo, mbeere ku ttivvi ng'ali e Bulaaya. Simanyi na kumanya!"