Ronaldo ataddewo likodi y'omuzannyi akyasinze okuteeba ggoolo mu nsi yonna nga Man U ekuba Spurs

Cristiano Ronaldo ataddewo ekyafaayo ky'omuzannyi w'omupiira akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu nsi yonna bw'akomyewo n'omutindo n'akuba ggoolo 3 mu mupiira gumu n'awa kiraabu ye eya Manchester United essuubi ly'okuzannya mu kikopo kya Champions League sizoni ejja.

Ronaldo ataddewo likodi y'omuzannyi akyasinze okuteeba ggoolo mu nsi yonna nga Man U ekuba Spurs
NewVision Reporter
@NewVision
#Ronaldo

Bya Wilson W. Ssemmanda

Cristiano Ronaldo ataddewo ekyafaayo ky'omuzannyi w'omupiira akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu nsi yonna bw'akomyewo n'omutindo n'akuba ggoolo 3 mu mupiira gumu n'awa kiraabu ye eya Manchester United essuubi ly'okuzannya mu kikopo kya Champions League sizoni ejja.

Mu mupiira guno, Manchester United ewangudde Tottenham ku ggoolo 3 ku 2.

Ronaldo (37) abadde yaakateeba ggoolo 1 yokka mu mipiira gye 10 egisembyeyo kyokka ayanaamirizza ensi bw'asitudde omutindo ng'ateeba Spurs ggoolo 3 ezimutuusizza ku kyafaayo eky'okuba omusambi w'omupiira akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu nsi okusinziira ku bibalo by'ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi yonna ekya FIFA bw'awezezza ggoolo 807 ku kiraabu ne ku ggwanga lye erya Portugal.

Ensiitaano y'omupiira bwe yabadde

Ronaldo yakedde aba Spurs bwe yakubye endiro okuva mu yaadi 25 n'ekwata akatimba mu ddakiika eya 12 olwo Man U n'ekulembera omupiira kyokka mu ddakiika eya 35, Omungereza Harry Kane 'yagasse' omupiira guno ng'ayita mu kusimula peneti olw'omuzibizi wa Man U, Alex Telles eyagukwatidde mu ntabwe.

Ronaldo teyabugumizza na mbooge, n'abongera ggoolo eyookubiri mu ddakiika ssatu zokka nga Kane ateebye ekyazzizza Man U ku ntikko y'omuzannyo nga asisiti yamukoleddwa omuwuwuttanyi Omungereza, Jadon Sancho era awo omupiira we gwawummulidde. Kyokka kapiteeni wa Man U - Harry Maguire yayongedde okukola ebyempuna bwe yatiribidde ne yeeteeba ggoolo mu ddakiika eya 72 n'aleka abawagizi nga batolotooma nga sseggwanga enywedde amanaabemu nga ne w'osomera bino bakyagenda mu maaso n'okumukolokota ku mikutu gya 'soso mediya'.

Omupiira bwe gwatuuse mu ddakiika eya 80, Spurs yabadde etandise okuzannya enkola eya 'Tubalemese' ng'eyagala guggweere mu maliri aga 2-2 kyokka Ronaldo n'abayita ku litalaba bwe yabasinsimudde omutwe gwe yatomedde okuva mu kkoona eryaleeteddwa Omubulaziiru Alex Telles mu ddakiika eya 81 kwe kuweza ggoolo 807 ng'ayita ku mugenzi Josef Bican gwe yalese ku ggoolo 805 nga likodi ye eno ebadde emaze emyaka n'ebisiibo.

Josef Bican y'ani?

Austrian Bican, yayatiikirira nnyo mu myaka gya 1931 - 1956 era ggoolo ze ezisinga obungi yaziteebera mu kiraabu ya Slavia Prague, ggoolo 427 mu mipiira 221. Ku mupiira gw'eggwanga yazannyira amawanga abiri, mu kusooka yazannyira eggwanga lye gy'asibuka erya Austria oluvannyuma n'azannyira mu ttiimu ey'eggwanga ery'awamu era Czechoslovakia. 

Yawummula omupiira ku myaka 42 ng'ateebye ggoolo 805 mu mipiira egisoba mu 600 n'afa nga December 12, 2001 ku myaka 88.

 

Login to begin your journey to our premium content