Bellingham amenye likodi ya Ronaldo

Nga bawangula Cadiz ggoolo 3-0, Bellingham yateebye ggoolo eyookusatu n’awa abawagizi ba ttiimu ye essanyu.

Bellingham ng'asanyukira ggoolo.
NewVision Reporter
@NewVision
#Bellingham #Real Madrid #Cadiz #La Liga #Girona #Bilbao

Omuwuwuttanyi wa Real Madrid ne Bungereza, Jude Bellingham ayongedde okufuuka ensonga mu liigi eno bw’amenye likodi Cristiano Ronaldo gye yalekawo.

Bellingham yateebye ggoolo ey’e 14 mu mipiira 15 gye yaakazannya sizoni eno n’amenyawo Cristiano Ronaldo eyateeba 13 mu mipiira 15.

Nga bawangula Cadiz ggoolo 3-0, Bellingham yateebye ggoolo eyookusatu n’awa abawagizi ba ttiimu ye essanyu.

Real Madrid yeenywerezza ku ntikko ya La Liga nga mu mipiira 14, yaakakung’aanya obubonero 35. Girona abazannya Bilbao leero balina 34 mu mipiira 13.

Mu ngeri y’emu, Bellingham yeenywerezza ku ntikko y’abateebi ne ggoolo 11.

Login to begin your journey to our premium content