Ronaldo de Lima azalaye Cristiano: 'Messi amusinga'

EYALI ssita wa Brazil, Ronaldo de Lima yeewuunyisizza abawagizi, bw'alonze abazannyi 8 abaakasinga okumuzannyira omupiira n'aleka Cristiano Ronaldo ebbali.

Ronaldo de Lima azalaye Cristiano: 'Messi amusinga'
NewVision Reporter
@NewVision
#Ronaldo Da Lima

EYALI ssita wa Brazil, Ronaldo de Lima yeewuunyisizza abawagizi, bw'alonze abazannyi 8 abaakasinga okumuzannyira omupiira n'aleka Cristiano Ronaldo ebbali.

Ronaldo, 47, yazannya omupiira wakati wa 1993 ne 2011, mu Barcelona, Inter Milan, Real Madrid ne AC Milan nga ku ttiimu y'eggwanga (Brazil) yazannya emipiira 98 mwe yateebera ggoolo 62. Mu kiraabu, yateeba ggoolo 352 mu mipiira 518.

Yawangula Ballon d'Or mu 1997 ne 2002. Ye nnannyini Real Valladolid ey'e Spain ne Cruzeiro eya Brazil.

Mu bazannyi be yalonze, yeetadde mu kisooka n'addirirwa Diego Maradona, Lionel Messi, Yohan Cruyff, Franz Beckenbauer, Pele, Marco van Basten ne Ronaldinho.

Wadde nga Cristiano Ronaldo yaakateeba 891 ku myaka 38, Ronaldo de Lima yagambye talina w'asembererera ttuluba ly'abazannyi be yalonze.

"Abawagizi n'abantu abalala ba ddembe okutandika okukaayana mu bbaala ez'enjawulo naye kye balina okumanya olukalala luno abaliko be basinga," Ronaldo bwe yategeezezza omukutu gwa The Guardian.

Ng'oggyeeko Cristiano Ronaldo, bassita abalala abataalowoozeddwaako ku lukalala lwa Da Lima kuliko; Michel Platini, Alfredo Di Stefano, Zinedine Zidane, George Best ne Ferenc Puskas abamu ku bawagizi be bagamba nti waakiri bandibaddeko.

Login to begin your journey to our premium content