Ballon d'Or 2023: Messi awangudde Haaland, yaakagitwala emirundu 8

OMUTEEBI wa Inter Miami CF, Lionel Messi aawangudde engule y’Omusambi w’omubiira asinga mu nsi yonna eya Ballon d'Or ey’omulundi ogw’omunaana.

Ballon d'Or 2023: Messi awangudde Haaland, yaakagitwala emirundu 8
NewVision Reporter
@NewVision
#Lionel Messi #Ballon d'Or #Inter Miami CF #Erling Haaland

Paris, Bufalansa

OMUTEEBI wa Inter Miami CFLionel Messi aawangudde engule y’Omusambi w’omubiira asinga mu nsi yonna eya Ballon d'Or ey’omulundi ogw’omunaana.

Messi 36, awangudde omuteebi wa Manchester City - Erling Haaland bwe babadde bavuganya, kyokka enkizo y’okuwangulira Argentina ekikopo ky’ensi yonna ekya World Cup omwaka oguwedde n’emuwanguza.

Ono afuusi omuzannyi azannyira mu liigi y’e America asoose okuwangula engule eno newankubadde ebyasinze okumuwanguza sig ye yabikolera.

Haaland, eyateebera Man City ggoolo 52 bwe baali bawangula ebikopo bisatu mu ssizaoni eweddeakutte kyakubiri era n’atwala n’engule ya Gerd Muller Trophy eweebwa omuteebi asinze okuteeba ggoolo ennyingi mu mwaka.

Ate mu mupiira gw’abakazi, omuwuwuttanyi wa Barcelona era azannyira SpainAitana Bonmatí ye yawangudde ey’abakazi (Ballon d'Or Féminin) oluvannyuma lw’okuzannya obulungi ku kiraabu ne ku ggwanga mwe baawangulidde ekikopo ky’ensi yonna.

Mu balala, goolo kiipa wa ArgentinaEmiliano Martinez ye yatutte engule ya kiipa eya Yashin Trophy ate Jude Bellingham owa Bungereza ne Real Madrid n’atwala eky’omuzannyi ali wansi w’emyaka 21 eyasinze.

Nga Messi tannawangula ngule eyamukwasiddwa mu kibuga Paris, ekya Bufalansa abadde yaakakiwangula emirundi musanvu, nga yatandika mu 20092010, 2011, 2012, 2015, 2019 ne 2021.

Abamuddirira kuliko Cristiano Ronaldo alina engule ttaano (5), Michel Platini, Johan Cruyff ne Marco van Basten bonna abaakiwangula emirundi esatu esatu.

Login to begin your journey to our premium content