Bya Olivia Nakate
Kiraabu ya Onduparaka FC eva mu disitulikiti ya Arua eyatandikibwawo mu 2011 abaali abayizi b'ettendekero lya MUBS okuli Benjamin Nakun, Joe Erema ne Anthony Atepi.
Oluvannyuma lw'okwetaba mu mpaka za FUFA ez'enjawulo okuli ne Big League, mu 2016 yasumusibwa okujja mu liigi y'ababinywera eya supa ng'eyambibwako abazannyi okuli: Shaban Muhamad, Rashid Toha, Gaddafi Gerdinho n'abalala n'efuuka kiraabu eyookubiri okuva mu Arua okuzannyirako mu liigi ya supa.
Olw'obuwagizi Onduparaka bwe yafuna okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo, sizoni yaabwe eyasooka eya 2016-2017 baamalira mu kifo kyakutaano.
Mu sizoni ya 2018-2019 baamalira mu kyamukaaga, 2019-2020 baamalira mu kyamunaana ate sizoni ewedde eya 2020-2021 katono basalweko nga baamalira mu kifo kya 12 mu kibinja kya ttiimu 16.
Olw'omutindo ogw'ekibogwe kiraabu eyasooka okubawa essanyu, olw'omutindo gweyolesa, kati abawagizi ba kiraabu eno mu Arua bakyeebuza ekyagituukako wadde nga balina essuubi nti omutindo gwandikyukamu sizoni eno eya 2021/2020.
Abamu ku bawagizi ba kiraabu eno bagamba nti okugenda kw'omuteebi Shaban Muhammad mu 2017 ne yeegatta ku KCCA FC kyalekawo eddibu ddene mu kiraabu eno.
Kirabu ya KCCA FC y'ekyasinzze okujojobya Onduparaka FC ng' emirundi gyonna etaano gy'ekyadde e Lugogo mu liigi ekubiddwa ggoolo eziwerako nga sizoni ewedde baabakubirawo ggoolo 8.