Leero mu Big League
Booma FC – Jinja North, Masindi
Ku Ssande
Ndejje University – Kaaro Karungi, Luwero
Calvery FC – Kigezi Home Boys FC, Yumbe
Blacks Power FC – Onduparaka FC, Lira
Kyetume FC – Kiyinda Boys FC, Nakisunga
Ku Mmande
Police – Young Elephants FC, Kavumba
MU kaweefube wa Police FC okwesogga liifi ya ‘super’ sizoni eno, baleese omutendesi Simon Peter Mugerwa abayambe. Mugerwa atendeka Buddu, yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri adde mu bigere bya Angello Lonyesi abadde mu mitambo gya ttiimu sizoni ewedde.
Mugerwa
“Kimpadde essanyu okwegatta ku ttiimu gye mmaze ebbanga nga ngoberera by’ekola. Ekiruubirirwa ky’okukomawo mu ‘Super’ tulina kukituukako nga tukolera wamu n’abazannyi ssaako abakungu ba ttiimu,” Mugerwa bwe yategeezezza.
Leero Lwakuna sizoni ya Big League 2023/2024 lw’eggyibwako akawuuwo n’omupiira gumu wakati wa Booma FC ng’ekyazizza Jinja North FC ku kisaawe kya Masindi Stadium. Police FC yaakuggulawo sizoni eno ku Mmande bwe banaaba bakyazizza Young Elephants e Kavumba.
Gye buvuddeko baayanjudde abazannyi abapya 13 okuli; Ahmed Amayo, Daniel Otto, Edmond Otim, Raymond Onyai, Edward Kasibante, Allan Bukenya, Brian James Obedi, Edgar Tukahirwa, Daniel Eragu, Augustine Kacuncu, Isaac Ogwang, Steven Kabuye ne Ivan Eyamu.