Bull FC ne Villa zisisinkanye mu za Uganda Cup

Obululu bw’oluzannya olwa ttiimu 32 nga bwe bukwatiddwa:

Obululu nga bukwatibwa
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Obululu bw’oluzannya olwa ttiimu 32 nga bwe bukwatiddwa:

BUL FC v SC Villa

Pajule Lions FC v Police FC

Junior Eagles FC v Onduparaka FC

Bunyaruguru United FC v UPDF FC

Kitara FC v Uganda Pentecostal University

Kiyinda Boys v Kigezi Home Boys FC

Golilla Highlands/ Kataka FC v KCCA FC

Black Power FC v Wakiso Giants FC

Jinja North United v Vipers SC

Ndejje FC v Bluestar FC  

Kisugu United FC v Paidha Black Angels FC

Adjumani FC v Elite FC/Arua Hills

Mbale Heroes v Solitiro Bright Stars FC

Mbarara City FC v Admin FC

Calvary FC v JLOS FC

Okweddiza ekikopo kya Stanbic Uganda Cup kujja kubaako ensitaano olwa bakyampiyooni aba BUL FC akalulu okubasuula ku SC Villa abalina enyonta y’ekikopo kino okuva mu 2015 lwe baasemba okukiwangula.

Mv 5

Mv 5

Wabula BUL eyawanduliddwa ku luzannya olusooka mu mpaka za CAF Confederation Cup y’ekyaza SC Villa ng’emipiira gyojja e 16 gyakuzannyibwa wakati wa February 11-20 ku bisaawe ebitali bimu.

KCCA FC eyakiikirira Uganda mu Champions League mu 2019 yandiba ng’eyise wagonda ng’akalulu kagisudde ku Golilla Highlands FC mu bugwanjuba bwa Uganda wabula ng’eno ekyaliko akabuuza bwe yawawaabiddwa Kataka FC olw’okuzannyisa abacubba.

Okukwata obululu okubadde ku kitebe kya FUFA e Mengo tekubaddemu kusengeka bakirimaanyi nga bwe kitera okubeera.

Aisha Nalule akulira eby’okuvuganya mu mipiira ategeezezza wabula nti bakyalina emisaango egyawawaabiddwa ebiri nga Kataka FC yawawaabidde Golilla Highlands olw’okusambisa abasambi Patrick Nduwanyeza ne Sotirio Imurora mu bukyamu wamu n’ogwa Arua Hill eyawawaabidde Elite FC olusambisa Edmong Ogwang nga bagamba nti asambira kiraabu bbiri.

“Turina emisango ebiri egy’okusala. Emipiira gisamibwa February 11-20. Abakyaza balina okuba n’ebisaawe ebirungi. Ambyuleensi nga ziri mu mbeera nnungi ziteekeddwa okubeera ku kisaawe,” bye bimu kw’ebyo Aisha bwe yalambise.

Rogers Mulindwa akulira ebya layisinsi ategeezezza nti empaka zirimu okuvuganya kunene nga kiraabu za supa zisigaddemu 10 zokka, 8 za Big League ng’endala za ligyoni.

“Wabula ttimu zisaanye okwongeramu okuvuganya kubanga ezisinga zibadde ziraaza nnyo oluvannyuma lw’okuteeba mu kitundu ekisooka. Ggoolo 49 ziteebeddwa mu kitundu kisooka ate 34 mu kyokubiri. Kino era kiraga nti ttiimu ezimu zisambye eddakiika 55 mu kifo kye 90 ng’endaba zibadde mu kulaaza, ekyolekedde okuzikosa nga ziyiseemu okusamba egya CAF,” Mulindwa bw’ategeezezza.

Ttiimu ezinaayita ku luzannya luno zigenda kuyingira abavuganyiza ensimbi ng’omuwanguzi waakufuna obukadde 50