Onduparaka ezzeeyo mu Big League

ONDUPARAKA FC ezzeeyo mu Big league oluvannyuma lw'okukubwa Maroons e Luzira ggoolo 1-0.

Aba Onduparaka nga bali mu nsiike
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
Maroons FC 1-0 Onduparaka
 
ONDUPARAKA FC ezzeeyo mu Big league oluvannyuma lw'okukubwa Maroons e Luzira ggoolo 1-0.
 
Onduparaka yazze mu nsiike eno ng'eyagala buwanguzi bwokka okutangaaza emikisa gyayo okusigala mu liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League wabula ne kigaana oluvannyuma lwa Busoga United okumegga Arua Hill 4-1 mu Arua.
 
Darius Ojok ye yakutudde emitima gy'abawagizi ba Onduparaka mu ddakiika ye 19 ne basigala wansi w'ekimeeza n'obubonero 16 ng'ebula emipiira ebiri gyokka liigi eggweeko.
 
Onduparaka yajja mu liigi ya babinywera mu sizoni ya 2015/16 ne Busoga United.
 
Mu ngeri y'emu Blacks Power yawangudde ensiike yaayo ng'emegga Gaddafi 3-2 so nga yo UPDF yakubiddwa SC Villa 2-0.
 
Busoga United (27), UPDF (26) ne Blacks Power 23) kwe kuli asigala okwegatta ku Onduparaka.