Ogwa Express ne SC Villa mu liigi gwa kufa na kuwona

Ku mulundi guno, Express y’ekyaza era erwana kwesasuza SC Villa eyabakuba ggoolo (2-0) mu kisaawe kye kimu, omupiira ogwaleka abawagizi ba Express nga bakukkuluma olwa Villa okubajoogera mu kisaawe kye bayita amaka gaabwe. 

Ssali (wakati) ng'akasuse ekinusu okutandika ogumu ku mipiira gya liigi.
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#StarTimes Uganda Premier League #Express #SC Villa #Mashood Ssali #Wankulukuku #Catherine Adipo

DDIIFIRI wa FIFA, Mashood Ssali y’akakasiddwa okulamula ensiike ya liigi wakati wa Express ne SC Villa ku Ssande e Wankulukuku. Omupiira guno gusuubirwa okuba ogwa vvaawompitewo olwa ttiimu zombi okubeera n’akakuku ate nga zeetaaga obuwanguzi mu mbeera zonna. 

Ku mulundi guno, Express y’ekyaza era erwana kwesasuza SC Villa eyabakuba ggoolo (2-0) mu kisaawe kye kimu, omupiira ogwaleka abawagizi ba Express nga bakukkuluma olwa Villa okubajoogera mu kisaawe kye bayita amaka gaabwe. 

Sizoni eno, Express ebintu tebinnagitambulira bulungi kuba bali mu kya 11 n’obubonero 18 sso nga Villa yaakuna n’obubonero 28. 

Ssali waakuyambibwako Okello Lee ne Dick Okello, Olemu George ye ddiifiri owookuna sso nga Catherine Adipo ye kalabaalaba w’omupiira. 

Mu ngeri y’emu, Ashaduh Ssemere y’alondeddwa okulamula ensiike wakati wa Onduparaka FC erwanyisa ekyambe ne Gaddafi FC ku Lwomukaaga ku kisaawe kya Greenlight Stadium mu Arua 

Onduparaka FC y’ekoobedde mu liigi n’obubonero musanvu sso nga Gaddafi eri ku bubonero 22.