Munnayuganda omuddusi w’embiro ennyimpi Tarsis Orogot y'omu ku Bannayuganda abaayiseewo edda okukiika mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egy'okubeera mu Budapest ekya Hungary mu August w’omwaka guno.
Orogot okutuuka okuyitamu okukiika mu misinde gy'ensi yonna abadde avuganya mu misinde egitegekebwa ekibiina ekitwala omuzannyo gw’emisinde mu matendekero ga America egya National Collegiate Athletic Association (NCAA) egy'omulundi ogusooka nga gibadde mu kibuga Jacksonville.
Orogot avuganyizza mu mbiro za mmita 200 nga aziddukidde sekonda 20 n'obutundu 12.
Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation Dominic Otucet ategeezezza nti musanyufu nnyo n’omutindo ogwoleseddwa Orogot nga akati y'omu ku baddusi abatunuuliddwa okuwanirira ebiseera by’eggwanga eby'omu maaso mu mbiro ennyimpi.
“Mwebaza okuweesa ekibiina ky’emisinde ekitiibwa n’eggwanga okutwalira awamu. Nga eggwanaga kati tugenda kulaba nga tuteekawo embeera ennungi esobola okuyamba abaddusi okuyitawo okukiika mu mpaka ez'amaanyi,” Otucet bwe yategeezezza.
Uganda yaakayisaamu abaddusi abasoba mu 15 abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna eza World Athletics Championships ezokubeera mukibuga Budapest okuvanga ennaku z’omwezi 19- 27 omwezi ogwa August.