Munnayuganda Rakib Fedha Abdul awangudde zaabu mu mpaka za gymnastics e Turkey.
Rakib Fedha Abdul yafuuse munnayuganda eyasoose okuwangula empaka za Bosphorus Parkour Gymnastics International ez'omulundi ogwasookedde ddala mu kibuga Istanbul ekya Turkey.
Empaka zino ezaayindidde ennaku ssatu zaakomekkerezeddwa nga 7 sept nga Uganda yeetisse ez'abasajja.
Rakib akwata ekifo ekisooka mu muzannyo gwa gymnastics mu Uganda yabadde attunka ne Baris Karaduman munnansi wa turkey ku luzannya olwakamalirizo era zaagenze okuggwa nga akunganyizza obubonero 24,21 ate gweyabadde avuganya naye nafuna obubonero 27,41 mu mutendera gwokuwenyuka nga bwobuuka ebyuma.
Nga tannatuuka ku luzannya olwakamalirizo yasooka kuggyamu munnansi wa Syria Al Hussein Muhammad.

Munnayuganda eyawangudde wakati
Guno mulundi gwa kubiri nga Rakib azannaya gymnastics ku mutendera gwensi yonna nga yasooka kukiikirira Uganda mu mizannyo gya Parkour world Championship egyali e Japan omwaka oguwedde gyeyalondebwa nga eyasinga okuva ku lukalu lwa Africa.
Toprak Topuz ne Baris Karaduman bannansi ba Turkey baawangudde ogwa feeza nogwekikomo.
Uganda yakiikirira abantu babiri omwami n'omukyala nga mu bakyala Zubeda Talika yamalidde mu kifo kya kutaano oluvannyuma lw'okuggyibwamu munnansi wa Madagascar Ravoavonjiarison Feno Fitsikiana eyatutte omudaali ogwekikomo.
Zaabu mu bakyala yatwaliddwa munnansi wa turkey Acimis İrem ate Domnez Ela natwala ogwa feeza.
President w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa gymnastics mu Uganda ekya Uganda Gymnastics Federation Harriet Ayaa yeyakulemberamu ekibinja kya Uganda era nga yatenderezza Rakib olwokuwanuka bendera ya Uganda. “ ndi musanyufu olwokutuwangulira omudaali guno kuba ekyamazima twabadde tetugusuubira, Rakib abadde akajjuza nnyo era nkakasa kibadde kimugwanira”.
Mu ngeri yeemu ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno kyatadde emikono ku ndagaano nekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga lya Turkey okubangula abazanyi nabatendesi ba Uganda saako nokuwaayo obuyambi bwebikozesebwa mu gymnastics.