Ebyemizannyo

Ndejje ekamudde aba Mutundwe mu mpaka za Makindye - Ssaabagabo

Omuluka gw'e Ndejje katono gubuzeeko ogw’e Mutundwe we banywera amazzi oluvannyuma lw’okubakuba ggoolo 2 ku 0 mu mupiira ogwabadde ogwa kaasammeeme ogwayindidde ku kisaawe kya Lufuka ku Nnya ku Bata Bata - Zana ku Lwokutaano.

Ndejje ekamudde aba Mutundwe mu mpaka za Makindye - Ssaabagabo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Khasifah Naava

Omuluka gw'e Ndejje katono gubuzeeko ogw’e Mutundwe we banywera amazzi oluvannyuma lw’okubakuba ggoolo 2 ku 0 mu mupiira ogwabadde ogwa kaasammeeme ogwayindidde ku kisaawe kya Lufuka ku Nnya ku Bata Bata - Zana ku Lwokutaano.

Empa zino ezivuganyizibwa wakati w'emiruka egikola Makindye - Ssaabagabo zaatandika nga  19 November 2022 ogwatumiibwa Makindye - Ssabagabo Youth Cup nga zivujjirirwa akulira abavubuka mu Makindye - Ssaabagabo Municipality, Whycliff Mpinga. 

Emiruka egisindana giri munaana okuli; Ndejje, Masajja, Mutungo, Namasuba, Busabala, Bunnamwaya, Sseguku ne Mutundwe.

Mpinga agamba ekigenderwa ky’empaaka zino kya kubeera bumu , okuzuula ebitone mu bavubuka, saako n’okufunamu akasente akatonotono.

Agamba nti empiira egyakasambwako giri etaano era nga empaka zisuubirwa okukomekkerebwa nga 1 January 2023 era omuwanguzi waakutwala Ente, ekikoppo, emidaali, omupiira, seeti y’emujoozi saako ne satifikeeti ate anaakwata ekifo eky’okubiri naye waakuwangula embuzi ,emidaali, seeti y’emijoozi,omupiira ne satifikeeti.

Abamu ku batadde esnimbi mu mpaka zino kuliko;  Akram Lutaaya, Godfrey Kabuzi Ssemwanga, Sulaiman Ssejjengo, RDC wa Kasangati, Frank Kyazze, Kawuma Ssedrick, Yusufu Bugaga,ne Wakiso District Youth Council.

Tags: