EJJOOGO lya yunivasite y’e Ndejje mu mizannyo gya ‘Association of Uganda University Sports (AUUS)’ lyongedde okusimba amakanda bwe y’eddizza obwakyampiyoni omulundi ogwo 8 ogw’omuddiring’anwa.
Emizannyo gino gyakomekkerezeddwa ku Mmande (December 23) ku Uganda Christian University (UCU) e Mukono. Gyabadde gya sizoni ey’omulundi ogwa 20 mu byafaayo nga gyamaze ennaku 6 nga giyinda okuva December 18.
Ndejje yayongedde okulaga obwannakyemalira bwe yakung’aanyizza omugatte ogw’awamu ku yunivasite endala, emidaali gya zzaabu 10, egya ffeeza 4 n’egyekikomo 2.

Abaana ba university nga battunka
Zaabu baamufunye mu mizannyo okuli; emisinde (abasajja n’abakazi), Badminton (abasajja), Bridge, Handball (abasajja), Karate (abasajja n’abakazi), Table Tennis (abakazi), woodball (abasajja n’abakazi).
Emisinde baakung’aanyizza obubonero 134 mu bakazi ate mu basajja 159. Badminton abazannyi; Felix Xavier Gitta, Thomas Kateregga, Micheal Nsubuga ne Samuel Wasswa beetisse zzaabu.
Mu Handball abasajja Ndejje yakubye Kampala University (43-33) okusitukira mu zzaabu.
Karate nga bayita mu Bruce Ikuzwe Manzi (67kg), Justine Wuwac Giu (61kg), Francis Ojja (84kg), ne mu mutendera gwa ‘Team Kumite’ baawangudde zzaabu. Ate mu bakazi; Mariam Nanyonjo (50kg), Lucie Yezakuzwe (55kg), Umulisa Yvette (-68kg), Berthe Iranezeza (68+kg) bonna zzaabu.
Table Tennis nga bayita mu Daphine Akol, Halimah Astolo Swab, Aminah Nampeera n’abalala basitukidde mu zzaabu.
Wooball abasajja nga bayita mu; Ramathan Matovu, Peter Ddungu, Gerald Kamaanya, Issa Lule ne Godfrey Luwagga baawangudde zzaabu ate mu bakazi; Beatrice Natukwatsa, Lindah Acio Abong, Racheal Asingura, Maria Judith Mukaya Janet Nabukeera, Lailah Bint Nakachwa okufuna zzaabu.

University nga zittunka
UCU EKUTUKIDDE MU MAANYI
Uganda Christian University abaategese emizannyo gino kaabuzeeko katono okuwangula empaka zino. Omwanguzi batunuulira muwendo gwa midaali gya zzaabu okusooka, ne baddako egya ffeeza n’ekikomo.
Wabula ku lunaku oluggalawo empaka, UCU ne Ndejje baabadde benkanya e midaali gya zzaabu 9 buli omu, wabula nga UCU esingako omuwendo gwa ffeeza 6 ate Ndejje ng’erina 4 gyokka.
Kino kyabadde kifuula UCU kyampiyoni wabula ku ssaawa esembayo mu muzannyo gwa Table Tennis abakazi, UCU yalemereddwa okuwagula zzaabu eyabadde egiwa obuwanguzi ate Ndejje n’efuna zzaabu mu Table Tennis