Pulezidenti Museveni ne mukyalawe minisita w'Ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni ssaawa yonna bagenda kuggulawo ekisaawe kya Hoima City Stadium
Ekisaawe kino kigenda kutuuza abantu 20,000 nga kizimbiddwa kampuni ya Suma ekizimbidde emyezi 18.

Ekisaawe kye Hoima bwekifaanana mu nda
Kino kye kisaawe ky'omupiira mu kiseera kino ekisinga obulungi n'okuba ku mutindo mu Uganda wadde ekya Mandela stadium e Namboole kye kisinga okutuza abantu abangi 42,000.
Era nga kye kimu ku kigenda okuzannyirwamu ekikopo kya AFCON mu 2027.
Abanenne mu ggwanga batuuse dda okuli minisita omubeezi ow'ebyemizannyo JC Muyingo n'abalala