Minisita w'Emizannyo Denis Obua aweze ebikonde mu masomero

Abeebikonde bayomba lwa kugoba muzannyo mu masomero

Minisita Hamson Obua (ku kkono) ng'alina byannyonnyola Ssaabawandiisi wa NCS, Dr. Bernard Ogwel (wakati) ne Dr. Donald Rukare ow'akakiiko ka UOC.
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Bikonde #School #Obua #Janet Museveni #Muhangi

MINISITA w’emizannyo, Hamson Obua ayimirizza empaka z’ebikonde ez’amasomero ga siniya ezimanyiddwa nga ‘National Schools Boxing Championships’.

Empaka zino zibadde zitandika ku Lwamukaaga nga June 18, 2022 zikomekkerezebwe nga June 25, 2022, mu MTN Arena e Lugogo.

Wabula mu bbaluwa Minisita Obua gye yafulumizza nga June 10, yalagidde empaka zino ziyimirizibwe mbagirawo.

Yalambise nti UBF (ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga), kikyalemeddwa okutuukiriza ebisaanyizo ebirina okutangira obulamu bw’abayizi okufuna obuzibu.

Moses Muhangi

Moses Muhangi

Yannyonnyodde nti okusalawo kuno kwavudde mu kafubo ke baasookamu omwali ne Minisita w’Ebyenjigiriza n’Emizannyo, Muky. Janet Museveni.

Wabula Moses Muhangi, Pulezidenti wa UBF, agamba nti eky’okusazaamu empaka zino kyakoleddwa lwa byabufuzi naddala eri Minisita Obua, era nti agenda kutuukiirira Muky. Museveni amulung’amye ku nsonga eno.