BANNAMAGYE 16 bazambalidde ku mugongo nga nswa okugenda okwetaba mu mizannyo gya Afrika egy’amagye egitandika ku Mmande mu kibuga Abuja ekya Nigeria.
Gino gyetabwamu bannamagye bokka n'ekigendererwa eky'okukuuma obumu mu bamukwatammundu bonna mu Afrika, okunyweza ebyokwerinda n'okuyiga obukodyo obupya.
Abazannyi bannamagye abaagenze.
Ttiimu bbiri okuli ey'abaddusi 8, abeebikonde 8 n'abakungu 11 be basitudde leero (Lwakuna) nga basiibuddwa akulira enkambi y’amagye e Bombo, Maj. Gen. Dr. Joseph Lucky Kidega ku mukolo ogwetabiddwaako ne ssaabawandiisi wa NCS, Dr. Patrick Ogwel, pulezidenti w’ekibiina ky’ebikonde Moses Muhangi, oweemisinde Domic Otucet n’abalala era Brig. Gen. Richard Karemire ye yakulembeddemu ttiimu eno.
“Bannamagye twagenda mu nsiko ne tuwangula zaabu Uganda kw’etambulira leero. Nammwe tubasindika e Nigeria mukomewo ne zaabu,” Maj. Gen. Kidega bwe yategeezezza.
Brig. Gen. Richard Karemire ne Ogwel (ku ddyo).
Zino mpaka za mulundi gwakubiri mu byafaayo nga zitegekebwa, Uganda sizoni eyasooka yawangula emidaali ebiri; ogw’ekikomo n’ogwa feeza nga gyombi gyava mu bikonde, omulundi guno bannamagye bagenze beewerera zaabu.
Muhangi yasuubizza akakadde kamu eri buli mudaali gwa zaabu ogunaawangulwa, emitwalo 75 eri ogwa feeza n’emitwalo 50 ku gw’ekikomo.