Matsiko yeepikira Munigeria

Bano baakuttunkira ku Serena Hotel nga October 1, 2022 wabula Matsiko aweze okufutizza Omunigeria ayite ne nnyina.

Matsiko
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Matsiko #kickboxing #Emmanuel Osuji

OMUZANNYI w’ensambaggere Alex Matsiko yeepikira kuggunda Munigeria, Emmanuel Osuji ‘The Fearless Dragon’ Onyemaechi.

Bano baakuttunkira ku Serena Hotel nga October 1, 2022 wabula Matsiko aweze okufutizza Omunigeria ayite ne nnyina.

Matsiko mu kiseera kino ali mu Thailand gye yagenze okufuna obukodyo obumala olwo zidde okunywa ng’attunka ne Osuji.

Bakuttunkira mu buzito bwa ‘Middle’ kiro 75 mu nnwaana eya K1 mwe bakozesa ebikonde, tekke n’amaviivi.

Yategezezza Bukedde nti waakudda mu Uganda ng’ebbula wiiki 2 olulwana luno okubaawo. Ajja mu lulwana luno nga ku nnwaana 20 ezisembyeyo awanguddeko 16 okuli tonnziriranga 8 sso ng’akubiddwaamu 4.

Alina emisipi egy’enjawulo okuli ogw’ensi yonna WKF World Kickboxing Federation mu buzito bwa ‘Middle’.