Empaka z’omupiira eziwakanirwa kkampuni ez’enjawulo zitandikidde mu maanyi

OLUTALO lw’okusitukira mu kikopo ky’empaka eziwakanirwa kkampuni ez’enjawulo mu ggwanga,lutandikidde mu maanyi.

Empaka z’omupiira eziwakanirwa kkampuni ez’enjawulo zitandikidde mu maanyi
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision
#Mupiira #Ggoolo #Byabizannyo #‘Civil Aviation Authority-CAA

OLUTALO lw’okusitukira mu kikopo ky’empaka eziwakanirwa kkampuni ez’enjawulo mu ggwanga,lutandikidde mu maanyi.

Kino kiddiridde okuggulwawo kw’empaka ezimanyiddwa nga “Corporate Sports Network-CSN (omweegattira ttiimu za kkampuni ez’enjawulo eziwakanira emizannyo egy’enjauwlo mu ggwanga) ku kisaawe kya makkomera e Luzira ku SSande emisana.

Ttiimu Ya Cocacola Nga Ekumba Bwe Baabadde Baggulawo Empaka Za Csn E Luzira Ku Ssande Ku Makya.1212

Ttiimu Ya Cocacola Nga Ekumba Bwe Baabadde Baggulawo Empaka Za Csn E Luzira Ku Ssande Ku Makya.1212

Mu mpaka zino ezeetabiddwaamu ttiimu ezaasobye mu 40, ttiimu ezibaddenga zirowoozebwa nti njabayaba zaaswaazizza zinnaazo ennene omwabadde n’eya Tropical Bank eyakiwangudde sizoni ewedde mu muzannyo gw’omupiira gw’ebigere.

Mu gimu ku mipiira egyanyumidde abalabi gwe gwa Centernary Bank ne URA, olw’embirannye y’okwagala okusitukira  mu kikopo eri wakati wa tttiimu zombi.

Embiranye eno esibuka ku ky’okubeera ng’emabegako Centenary bank ebaddenga esitukira mu kikopo ky’omupiira gw’ebigere mu mpaka zino kyokka okuva URA lwe yakibasuza mu sizoni ya 2023 ku lunaku olusembayo, ttiimu zombi tezirima kambugu.

Omuteebi Wa Coca Cola,yusuf Tumusiime Ng'alwanira Omupiira Ne Munne Owa Nile Breweries.212

Omuteebi Wa Coca Cola,yusuf Tumusiime Ng'alwanira Omupiira Ne Munne Owa Nile Breweries.212

Buli lwe zisisinkana buli ludda lwagala okulaga abawagizi baalwo nti lwe lusinza lunnaalwo amaanyi.

Embeera eno ye yanyumisizza ogumu ku mipiira egyaguddewo empaka zino era bakira buli muzannyi wa ttiimu zino akola ng’akalogoyi okulaga abawagizi be nti be basinza ekitone.

Kyokka gwaggweeredde mu maliri ga 0-0 olwa buli ludda obutakkiriza lunnaalwo kulengera katimba.

Mu mipiira emirala,Vision group yawangudde ABSA bank ggoolo 1-0, n’ekola amaliri ga 0-0 ne African Global Logistics  n’okukubwamu omupiira gumu ogwa Mogo loans 1-0. Ate Uganda Breweries yakubye Dfcu 2-1, Tropical Bank n’ekuba DHL 3-0 olwo ABSA n’ekola amaliri ga 2-2 ne Centenary bank.

 

“Tuli basanyuffu olw’okuvuganya okw’amaanyi okwoleseddwa ttiimu naddala ezibaddenga zirowoozebwa nti njabayaba kubanga kino kitegeeza nti zeetegese bulungi sizoni eno,” bw’atyo akulira olukiiko olufuzi olwa CSN, Mike Kajubi bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okuggulawo empaka zino.

Ye Apollo Matsiko, eyabadde omugenyi omukulu okuva mu ‘Civil Aviation Authority-CAA yasiimye kkampuni ezeetabye mu mpaka z’omulundi guno era n’asaba abakozi baazo okweyambisa emizannyo okuzimba enkolagana ne zinnaazo.