Vipers ekansizza Kambale n'eyongera okuggumira

Kambale y’omu ku bazannyi abaasaze eddiiro ng’akatale k’abazannyi aka Uganda tekannaggalawo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Omuzannyi ono eyayamba Express okuwangula liigi mu sizoni ya 2020-2021 era yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri.

Kambale ng'akyzannyira Express.
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Express #Eric Kambale #Allan Okello #Vipers #El Merreikh #CECAFA Kagame Cup

ABAWAGIZI ba Vipers bongedde okuguma nti sizoni eno baakweddiza ebikopo ebibiri nga bwe gwali sizoni ewedde. Kiddiridde ttiimu eno okulangirira nga bw’ekansizza eyali omuteebi wa Express FC, Eric Kambale okumugatta ku Allan Okello gwe baasoose okukansa.

Kambale y’omu ku bazannyi abaasaze eddiiro ng’akatale k’abazannyi aka Uganda tekannaggalawo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Omuzannyi ono eyayamba Express okuwangula liigi mu sizoni ya 2020-2021 era yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri.

Kambale akomyewo mu liigi oluvannyuma lw’omwaka gumu ng’azannyira mu El Merreikh eye Sudan gye yeegattako mu sizoni ya 2022/23. Kigambibwa nti obutali butebenkevu mu Sudan zaawalirizza omuzannyi ono okuva mu El Merreikh akomewo mu liigi ya babinywera.

Kambale yazze kusikira Omubrazil Giancarlo Lopez Rodriguez eyayabulidde Vipers oluvannyuma lw’emyezi ebiri. Ng’oggyeeko liigi, Kambale yayamba ttiimu eno okusitukira mu CECAFA Kagame Cup.

Yafuuse omuzannyi owoomunaana okwegatta ku Vipers ng’abalala kuliko; Grant Matsiko, Richard Matovu, David Bagoole, Patrick Mbowa, Mohamed Salem Ekbad, Fumador Asiwome ne Okello.