She Cranes esubiddwa okukiika mu mpaka za Afrika e Botswana lwa ntalo mu kibiina ky'okubaka

ENKAAYANA n’obutakkaanya mu kibiina ky’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga zizzeemu okulemesa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okukiika mu mpaka z’ekikopo kya Afrika omulundi ogwokubiri mu byafaayo bukya zitandikawo mu 2010.

She Cranes esubiddwa okukiika mu mpaka za Afrika e Botswana lwa ntalo mu kibiina ky'okubaka
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#She Cranes #Africa #Botswana

ENKAAYANA n’obutakkaanya mu kibiina ky’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga zizzeemu okulemesa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okukiika mu mpaka z’ekikopo kya Afrika omulundi ogwokubiri mu byafaayo bukya zitandikawo mu 2010.

Mu 2012 Uganda era yagaanibwa okwetaba mu mpaka zino ezaali mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania lwa bukulembeze bwa Suzan Anek eyali pulezidenti ebiseera ebyo obwali butatuukirizza nsonga ezimu ekyaviirako okuteekawo akakiiko ak’ekiseera akaali kakulirwa ssentebe John Bosco Matsiko.

Ku Ssande empaka z’ekikopo kya Africa sizoni y’omwaka guno lwe ziggyibwako akawuuwo mu kibuga Gaborone ekya Botswana wabula Uganda yalemereddwa okukiika lwa ntalo eziri mu kibiina ky’okubaka ezaaviiriddeko ne Sarah Babirye Kityo eyabadde pulezidenti okuzzibwa ebbali.

 

Mu kiseera kino ekibiina ky’okubaka kikulemberwa kakiiko ak’ekiseera wansi wa ssentebe waako Moses Mwase ng’ayambibwako Leticiah Namutebi (ow’ekibiina ky’emisinde), Cecilia Anyakoit (owa NCS) ne kapiteeni wa She Cranes Peace Proscovia.

Mu ngeri y’emu She Cranes ebadde yaakasubwa okukiika mu mpaka z’ensi yonna ezaabadde zigendereddwaamu okulinnyisa ensengeka eza Spar Diamond Challenge Test Series ezaatandise ku Ssande nga zikomekkerezebwa Ssande ya wiiki eno mu South Africa.

Mwase yeetonze ku lw’ekibiina ky’okubaka n’obuvunaanyizibwa obwamukwasiddwa okuddukanya emirimu gya UNF okumala emyezi 6.

“Tusaaliddwa nnyo olwa She Cranes obutakiika naye ensonga twaziyingiddemu kikeerezi ne tulemererwa okukwatagana n’obudde kuba eby’okukolako mu kiseera ekitono nga bye bingi naye omuzannyo gugenda kudda mu nteeko,” Mwase bwe yategeezezza.

Uganda baakawangula ekikopo kya Africa emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa (2017 ne 2018), omwaka guno babadde banoonya kyakusatu.