Ebyemizannyo

Magogo ali mu kattu ;IGG anoonyereza ku FUFA ku bya ssente za CHAN

KALIISOLIISO wa Gavumenti (Inspector General of Government, IGG), Lady JusticeNaluzze Aisha Batala atandise okunoonyereza ku FUFA ku bigambibwa nti yakozesa bubi ssente Gavumenti z'egiwadde okuva mu 2016.

Pulezidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KALIISOLIISO wa Gavumenti (Inspector General of Government, IGG), Lady Justice
Naluzze Aisha Batala atandise okunoonyereza ku FUFA ku bigambibwa nti yakozesa bubi ssente Gavumenti z'egiwadde okuva mu 2016.
Ekiwandiika eky'emiko omusanvu ekyafulumiziddwa eggulo nga kiriko omukono gwa Batala, kyalagidde FUFA, ekulemberwa Ying. Moses Magogo okuwaayo ebintu bino;
 Kalonda yenna akwata ku akawunti za bbanka zonna FUFA z'eyisizzaamu ssente okuva nga January 1, 2016 okutuusa kati.
 Ssemateeka wa FUFA n'entuula za ttabamiruka wa FUFA n'ebiteeso ebiyisiddwa okuva nga January 2016.
 Embalirira ya ssente zonna FUFA z'efunye mu Gavumenti okuva nga July 1, 2021.

 Emitendera egiyitiddwaamu okugula ebintu bya FUFA byonna okuva July 1, 2021.
 Okulaga ettaka n’ebizimbe byonna ebiri wansi wa FUFA, engeri gye biguliddwaamu n’okuzimbibwa, ssente gye zibadde ziva ng’ebiwandiiko birina okubaako ennaku z’omwezi ne satifi keeti.
 Ekyapa okuli ekitebe kya FUFA e Mengo n’emitendera gyonna egyayitwamu okukifuna.
 Ekyapa kya FUFA Technical Center e Njeru, amannya ge kirimu, abaakizimba, engeri gye baawangulamu ttenda ne ssente gye zaava.
 Endagaano ne layisinsi z'ekisaawe kya FUFA Kadiba Stadium n’emitendera gyonna
egyayitwamu okukizimba, ssente gye zaava n'ensaasaanya ya ssente ezikigenzeeko.
 Ensaasaanya yonna ku Cranes ne ttiimu z’eggwanga zonna okuli wooteeri gye zibaddenga zisuzibwa okuva January 2018.
 Ebiwandiiko byonna ebiraga bwe baalondamu wooteeri ya Cranes mu CHAN n’obukakafu ku ani gwe baazisasula.
 Ebiwandiiko byonna ku bwannannyini bwa kkampuni ya FUFA Hospitality & Travel
Agency, evunaanyizibwa ku kutambuza abazannyi ba ttiimu z’eggwanga.
 Endagaano ne layisinsi FUFA z'egabiddenga ttivvi eziraga emipiira egiri wansi waayo okuva nga January 1, 2016.
 Endagaano ya StarTimes n’engeri ssente gye zigabanyizibwamu.
 FUFA erage obuwandiike nga bammemba ba ttabamiruka oba olukiiko lw’ayo nga lwebuuza ku kiraabu za liigi ya babinywera

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: