Ebyemizannyo

Mourinho amezze Barcelona ate n'awalalira baddiifi ri

LIKODI ya Barcelona ey'obutakubwa mu liigi y'e Spain sizoni eno yavuddewo ku Ssande, Real Madrid bwe yagirumbye ku Camp Nou n'egikuba ggoolo 2-1. Obuwanguzi bwa Real bwalaze omutendesi Jose Mourinho nti taggwangamu bwe yaleese 'notisi' ezaabuuzizza bassita ba Barcelona omupiira naddala bawuwuttanyi.

Mourinho
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Barcelona 1-2 Real

LIKODI ya Barcelona ey'obutakubwa mu liigi y'e Spain sizoni eno yavuddewo ku Ssande, Real Madrid bwe yagirumbye ku Camp Nou n'egikuba ggoolo 2-1. Obuwanguzi bwa Real bwalaze omutendesi Jose Mourinho nti taggwangamu bwe yaleese 'notisi' ezaabuuzizza bassita ba Barcelona omupiira naddala bawuwuttanyi.
Rodri ne Pedri, abasinga okuba ab'obulabe mu makkati ga Barcelona, Mourinho yabayungulidde Arda Guler ne Bellingham ne babakozesanga nsobi ez'omujjirano nga tebalina we basonsekera bateebi mipiira.
Kylian Mbappe yateebye ggoolo za Real zombi ate Raphina n'ateeba eya Barcelona. Wabula Mourinho yasobedde abantu bwe yalumbye baddiifi ri ba 'VAR' nti beebakidde ku mulimu olw'obutalaba ndobo ya oao Cancelo ku DiomanMourinho de eyabadde eya kaadi

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: