OMUGGUNZI w’enguumi Regarn Ssimbwa yeegasse ku ttiimu y’eggwanga lya Australia gy'agenda okutandika okuzannyira mu mpaka ezenjawulo.
Ssimbwa eyakiikirira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth egya 2018 egyali mu Australia gye yawandukira ku luzannya lwa ‘quarter'.
Ono yaweereddwa obutuuze kwossa empapula ezimukkiriza okuzannyira ttiimu eno mu butongole.
Mu kiseera kino y'omu ku basunsuddwa okukiikirira Australia mu mpaka ezinaasunsula abanaagikiikirira mu mizannyo gya Olympics egya 2024 eginaabeera mu kibuga Paris ekya Bufaransa.
Omutindo gwa yolesezza mu kuggunda Abazungu enguumi gwe gumu ku byamatizza ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu Australia okumupererezza n'akyuusa obutuuze.
Ssimbwa 
Yasoose kukuba Eddie Couime abadde nnamba emu wa Australia mu buzito bwa Light Heavy songa gye buvuddeko yakuba Lukmon Lawal n’abalala n'asitukira mu misipi egyenjawulo mu ggwanga lino.
Ng’oggyeeko emizannyo gya Commonwealth egya 2018, Ssimbwa era yakiikirirako Uganda mu mpaka za Africa Boxing Championship eza 2017 e Congo Brazaville kwossa eza Bingwa Wa Mabingwa e Tanzania gye yawangula omudaali gwa feeza.