'Tulina kusooka kukuza byamizanyo mu bitundu byaffe naddala gye tusibuka olwo tulyoke tulowooze ku by'amawanga g'ebweru'
Bino byoyogedwa eyavuganyako ku kifo ky'obubaka bwa Palamenti mu Kyaddondo East Omulangira Ssimbwa Khalid bwe yabadde akwasa aba Namavundu FC ente gye baawangudde mu mipira gya IDD gye yategeka gye buvuddeko.
Namavundu okutwala ekikopo kino n'ente kyaddiridde okumega ginnaayo eya Wampeewo FC gye yatimpula ggoolo 2-1 ku fayinolo.
Ssimbwa yasabye abantu naddala bannabyabufuzi okukomya okugatika ebyobufuzi mu buweereza bw'abantu kuba kizing'amya obuweereza ne butatuuka bulungi ku bantu olw'okusosolamu.
