Luuluno olukalala lw'amasomero ga Sir Apollo Schools Hajji Sewava g’azimbidde mu myaka 30

Luuluno olukalala lw’amasomero ga Sir Apollo Schools omugenzi Hajji Musa Sewava  ge yaleka gazimbye mu myaka 30 n'engeri gye gatandikamu. 

Hajji Farouk Sewava ng'ayogera.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Sir Apollo Schools #amasomero #Hajji Sewava

Bya Ponsiano Nsimbi 

Luuluno olukalala lw’amasomero ga Sir Apollo Schools omugenzi Hajji Musa Sewava  ge yaleka gazimbye mu myaka 30 n'engeri gye gatandikamu. 

Hajji Farouk Sewava, omu ku batabani bw’omugenzi bwe yabadde ayogerako eri abakungubazi mu Dduwa y’omugenzi e Buloba Kiweesa yategeezezza nti amasomero gonna e 10 gaava mu ssomero lya Kyengera Parents School  eyatandikibwa 1993 bwe yali akyakola mu  minisitule y’ebyenjigiriza era omu ku bakyala be ye yakolanga bbaasa. 

Abamu Ku Bakulira Amasomero Ga Sir. Apollo Kaggwa.

Abamu Ku Bakulira Amasomero Ga Sir. Apollo Kaggwa.

Mu 1996, Kyengera Parents yazaala Sir Apollo Old Kampala era wano weyasaalirawo okummuwula emirimu gya gavumenti n’atandika okukwasaganya pulojekiti y’a masomero ga Sir Apollo Schools esobodde okuvaamu amatabi ag’enjawulo agaatandikibwawo mu myaka egy’enjawulo nga bwe girambikiddwa; 2000 Sir Apollo Kaggwa Mengo, 2001 Winistone Bording  Primary School, 2006 Sir Apollo Kaggwa Nakasero, 2009 Fair Ways  Kireka, 2010 Kyengera Parents Mugong, 2016 Sir Apollo Kaggwa  Kisasi, 2018 Sir Apollo Kaggwa Kitintale ne City Parents School. 

Ku mukolo gwe gumu Hajji Farouk yanjulidde abantu abakulu bamasomero gano n’olukiiko olufuzi oluyambako mu nzirukanya y’emirimu olukulirwa Rose Nantanda.