Kitalo! Haji Musa Ssewava ow'amasomero ga Sir Apollo Kaggwa aziikwa leero olweggulo

Abasiraamu ne bannabyanbjigiriza ab'enjawulo mu ggwanga bakungubagidde omugenzi Haji Musa Ssewava, nnannyini masomero ga Sir Apollo Kaggwa Schools eyafudde mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Omugenzi Haji Musa Ssewava.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Haji Musa Ssewava #afudde #Sir Apollo Kaggwa

Bya Vivien Nakitende

Abasiraamu ne bannabyanbjigiriza ab'enjawulo mu ggwanga bakungubagidde omugenzi Hajji Musa Ssewava, nnannyini masomero ga Sir Apollo Kaggwa Schools eyafudde mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Okusinziira ku nnamwandu Sarah Nabuuma Ssewava agamba nti bba yafuna obulwadde bw'okusannyalala (stroke) ku Ssande ng'avuga emmotoka agenda e Buloba era emmotoka neekola akabenje naye tebaafuna buzibu bw'amaanyi.

Baamuddusa mu ddwaaliro lya Kampala Hospital gy'abadde ajjanjabirwa okutuusa lw'afudde.

Nnamwandu Sarah Nabuuma Ku Ddyo N'abakungubazi Mu Maka G'omugenzi E Muyenga.

Nnamwandu Sarah Nabuuma Ku Ddyo N'abakungubazi Mu Maka G'omugenzi E Muyenga.

Omuzikiti Gwa Masjid Fauz Omugenzi Gwe Yazimba Ku Luguudo Lwa Sir Apollo E Kampala Mukadde We Bagenda Okumusaalira.

Omuzikiti Gwa Masjid Fauz Omugenzi Gwe Yazimba Ku Luguudo Lwa Sir Apollo E Kampala Mukadde We Bagenda Okumusaalira.

Amaka G'omugenzi Ssewava Agasangibwa E Bukasa    Muyenga

Amaka G'omugenzi Ssewava Agasangibwa E Bukasa Muyenga

Abamu Ku Bakungubazi Mu Maka G'omugenzi E Muyenga   Bukasa

Abamu Ku Bakungubazi Mu Maka G'omugenzi E Muyenga Bukasa

Omugenzi Haji Musa Ssewava Ow’amasomero Ga Sir Apollo Schools Lwe Yatikkirwa Ddiguli Eyookubiri

Omugenzi Haji Musa Ssewava Ow’amasomero Ga Sir Apollo Schools Lwe Yatikkirwa Ddiguli Eyookubiri

Erimu Ku Masomero Lya Sir. Apollo Kaggwa Ku Kampala Mukadde Ery'omugenzi.

Erimu Ku Masomero Lya Sir. Apollo Kaggwa Ku Kampala Mukadde Ery'omugenzi.

Eno baamulongoosezza omutwe eggulo ku Lwokusatu n'adda bulungi engulu wabula yamazeewo akaseera kato Mukama n'amujjulula mu bulamu bw'ensi eno.

Wagenda kubaawo okusaalira omugenzi ku muzikiti gwe ogwa Masjid Fauz e Kampala Mukadde oluvannyuma aziikibwe ku biggya bya byabwe e Buloba leero ku ssaawa 10:00.

Abasiraamu ab'enjawwulo bagamba nti omugenzi abadde muzimbi wa mizikiti, ayagalai ennyo eddiini ye ey'Obusiraamu ng'agikulembeza mu buli nsonga