Engeri owa Sir Apollo Kaggwa eyafudde gye yazimba amasomero 10 aga Sir Apollo Kaggwa

HAJJI Musa Ssewava 62, omutandisi w’amasomero ga Sir Apollo Schools yafudde eggulo baakamala okumulongoosa ku mutwe olw’ebisago bye yafunidde mu kabenje ku Ssande.

Omugenzi Ssewava.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Musa Ssewava #gyeyazimba #amasomero 10

Bya Benjamin Ssebaggala Ne Vivien Nakitende

HAJJI Musa Ssewava 62, omutandisi w’amasomero ga Sir Apollo Schools yafudde baakamala okumulongoosa ku mutwe olw’ebisago bye yafunidde mu kabenje ku Ssande.

Mukyala we, Sarah Nabuuma Ssewava yategeezezza nti, bba yafunye akabenje ku Ssande bwe yabadde ng’avuga. Yabadde atuuka e Buloba ku lw’e Mityana n’afuna okusannyalala olwo emmotoka n’efuna akabenje kyokka teyafunye lubale lwonna era teyafulumizza musaayi.

Baamututte mu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo ne bamujjanjaba abasawo ne basalawo okumulongoosa ku Lwokusatu. Yazze engulu naye nga tannaba kuddamu kutegeera bantu. Embeera yatabuse era yafiiridde mu ddwaaliro nga bukya ku Lwokuna.

Aisha Kayingo Mwannyina W’omugenzi Ng’ayaziirana.

Aisha Kayingo Mwannyina W’omugenzi Ng’ayaziirana.

Ffamire n’olukiiko olufuzi olukulembera amasomero lwafulumizza ekirango nti, “Olukiiko olufuzi n’abayima wamu n’olukiiko olukulembera amasomero ga Sir Apollo Kaggwa ne City Parents’ Schools babika Dayirekita Hajji Musa Ssewava. Wwa kuziika e Buloba ku lw’e Mityana.”

Hajji Sulaiman Mbaziira Kalittunsi: Abadde mukwano gwange nnyo azimbye Emizikiti okuli; Masigid Fauza e Kampalamukadde era wano we baamusaalidde, Omuzikiti omulala ng’ova e Makerere okugenda e Kasubi, omulala guli Buloba we yaziikiddwa, e Wakiso mu kabuga nawo yazimbawo Omuzikiti.

Abadde ayamba abalala okuzimba Emizikiti, abadde teyeebaka ng’obudde bwonna n’ekiro abeera asoma kulaani ng’agisomesa n’abalala ate okwandibadde okuwummula ng’osanga ali mu nkiiko ez’enjawulo.

Nnamwandu yategeezezza nti, bba abadde alina amaka e Muyenga- Bukasa, Naggulu, Buloba ne Ntinda. Alese ekisaawe ky’ebyenjigiriza mu kyobeero n’aleka abazadde n’abayizi nga beebuuza ekiddako.

Bamukungubagidde nti alese eddibu ddene mu Basiraamu mw’abadde abakolera ebintu eby’enjawulo okuli n’okuzimba Emizikiti, ng’asasulira amazzi n’ebikozesebwa n’okusasula Imam olwo Abasiraamu ne basigalira kugenda kusaala.

Abamu Ku Bamulekwa Hajji Ssewava B’abadde Alabirira Mu Project Ya Buloba Steep Project Wansi Was Fauz Foundation.

Abamu Ku Bamulekwa Hajji Ssewava B’abadde Alabirira Mu Project Ya Buloba Steep Project Wansi Was Fauz Foundation.

AMASOMERO G’ABADDE ALINA
Hajji Musa Ssewava ye nnannyini masomero ga Sir Apollo Schools okuli: Sir Apollo Kaggwa Mengo, Sir Apollo Kagwa Primary School Nakasero, Sir Apollo Kagwa Primary School Kawempe ne Sir Apollo Kaggwa Boarding Primary School Old Kampala ku luguudo lwa Sir Apollo era weewabadde ofiisi ze.

Sir Apollo Kagwa Primary School Kisaasi, Sir Apollo Kagwa Primary e Kitintale, Amalala kuliko; Kyengera Parents School Mugongo ne Kyengera Parents Primary School (Day & Boarding).

Amaka G’omugenzi Ssewava Agasangibwa E Bukasa Muyenga.

Amaka G’omugenzi Ssewava Agasangibwa E Bukasa Muyenga.

Omwaka oguwedde yagula essomero lya City Parents okuliraana ekitebe kya Munisipaali y’e Lubaga.

Yagula Sir Apollo Kaggwa Primary School - Kisaasi yagula awaali Manchester High School n’ateekawo eryo. Winston Day and Boarding Primary e Kawempe gali amasomero abiri Fairway Schools e Kireka.