Bya Ponsiano Nsimbi
Luuluno olukalala lw’amasomero ga Sir Apollo Schools omugenzi Hajji Musa Sewava ge yaleka gazimbye mu myaka 30 n'engeri gye gatandikamu.
Hajji Farouk Sewava, omu ku batabani bw’omugenzi bwe yabadde ayogerako eri abakungubazi mu Dduwa y’omugenzi e Buloba Kiweesa yategeezezza nti amasomero gonna e 10 gaava mu ssomero lya Kyengera Parents School eyatandikibwa 1993 bwe yali akyakola mu minisitule y’ebyenjigiriza era omu ku bakyala be ye yakolanga bbaasa.
Abamu Ku Bakulira Amasomero Ga Sir. Apollo Kaggwa.
Mu 1996, Kyengera Parents yazaala Sir Apollo Old Kampala era wano weyasaalirawo okummuwula emirimu gya gavumenti n’atandika okukwasaganya pulojekiti y’a masomero ga Sir Apollo Schools esobodde okuvaamu amatabi ag’enjawulo agaatandikibwawo mu myaka egy’enjawulo nga bwe girambikiddwa; 2000 Sir Apollo Kaggwa Mengo, 2001 Winistone Bording Primary School, 2006 Sir Apollo Kaggwa Nakasero, 2009 Fair Ways Kireka, 2010 Kyengera Parents Mugong, 2016 Sir Apollo Kaggwa Kisasi, 2018 Sir Apollo Kaggwa Kitintale ne City Parents School.
Ku mukolo gwe gumu Hajji Farouk yanjulidde abantu abakulu bamasomero gano n’olukiiko olufuzi oluyambako mu nzirukanya y’emirimu olukulirwa Rose Nantanda.