Ebyemizannyo

Kitende ne Amus nsajja

Bannantameggwa b'omupiira gw'amasomero ku mutendera gw'abali wansi w'emyaka15 aba St. Marys Kitende balaze nti ekikopo baagala okukyeddiza bwe bawangudde emipiira gyonna egy'ebibinja e Gulu nga tebateebeddwaamu

Ashraf Junior owa Kitende ng'ayise ku bazibizi ba Hopeful Future SS eggulo. Kitende yawangudde (1-0) nga Hopeful Future lyazzeeyo e Kayunga mu Bugerere nga teriwanguddeeyo mupiira.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Mupiira U14;
Kitende 1-0 Madiina Islamic
Buddo 1-0 Lugazi SS
Bukedea 1-1 London College
Kitende 2-0 Bulo Parents
Madiina Islamic 1-1 Hopeful Future

Kitende 1-0 Hopeful Future
God's Way 2-0 St. Francis SS
Buddo 1-0 London College
Amus 3-0 Samson Kalibbala SS
Bukedea 1-0 Lugazi SS
Madina Islamic 1-0 Bulo Parents
Bannantameggwa b'omupiira gw'amasomero ku mutendera gw'abali wansi w'emyaka
15 aba St. Marys Kitende balaze nti ekikopo baagala okukyeddiza bwe bawangudde emipiira gyonna egy'ebibinja e Gulu nga tebateebeddwaamu. Kitende yakulembedde ekibinja A n'obubonero mwenda ne yeesogga 'quarter'. Yaddiriddwa Madina Islamic ku bubonero 4. Ekya B, Bukedea Comprehensive yakikulembedde n'obubonero 7 ate Buddo SS n'eddako ku 6.
Amus College nayo yeesozze 'quarter' bwe yakulembedde ekya C ng'okufaananako Kitende yawangudde  emipiira gyonna 3. God's Way nayo yayiseewo nga emu ku
ttiimu 2 ezaasinze mu baakutte ekyokusatu.
Abayizi 10,180 okuva mu masomero agasoba mu 500 be be bagyetabyemu ku mitendera
3; U15, U17 ne U20. Battunka mu mupiira, okubaka, basketball, volleyball, emisinde, n'emirala wabula emipya kuliko; khokho, pickball, kabaddi n'emirala. Gyagguddwaawo pulezidenti wa Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA), Justus Mugisha ku Lwokutaano

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: