Green Light Islamic SS Nansana 1-0 Buziga Islamic SS
Essomero lya Green Light Islamic SS e Nansana lizzeemu okweddiza ekikopo ky’empaka z’amasomero g’obusiraamu ekya Inter- Islamic Secondary Schools Association of Uganda (ISSAU) Competitions ez’omulundi ogw’omukaaga.

aba Madinah Islamic SS e Nsangi Katereke nga bakwasibwa ekikopo
Fayinolo y’empaka zino ebadde ku kisaawe ky’essomero lya Buziga Islamic Theological Institute e Buziga nga zimaze omwezi n’okusoba nga ziyinda. Zigenze okuggwa, nga ba kyampiyoni b’empaka zino omwaka oguwedde aba Green Light Islamic SS e Nansana bazzeemu okuzeetikka bwebakubye Buziga Islamic abategesi ku ggoolo 1-0.
Ssentebe w’empaka zino Haji Ishakka Mbalirwa akulira essomero lya Madinah Islamic SS agambye nti, empaka zino zaagendererwamu okugatta amasomero g’obusiraamu okuba obumu, n’okunnyikiza eddiini n’okusoma nga bayita mu bintu ebigatta abayizi ng’emizannyo, n’ategeza nti guno gwe mulundi ogw’omukaaga, era beeyongeddeko kinene okuva ku masomero 5 gebaatandika nago empaka zino mu 2019, okutuuka ku masomero 20 leero.

Haji Ishakka Mbalirwa ssentebe w'empaka
Asabye abasiraamu abeesobola okwongera okuteeka ssente mu mpaka zino bongere okuzikuza n’okukuza ebitone by’abaana, kubanga ebitone mulimu oguyinza okuliisa omuntu obulamu bwe bwonna nga tajula, basobole n’okuzimba ekitebe ky’ekibiina kino.
Ye omugenyi omukulu Imaam Kasozi , ayozaayozezza abawanguzi, neyeebaza abategezi olw’ekibiina kino ekigatta amasomero g’obusiraamu, n’ategeeza nti kino kiyamba bingi omuli abayizi okugaziya enkolagana yaabwe n’okwemanya ate nga bikulu nyo mu nsi.

Aba Green Light Islamic SS Nansana nga battunka naba Buziga Islamic Theological Institute mu z'akamalirizo
N’abasuubiza okubagabula akabaga, amasomero gonna ageetabye mu mpaka gabeewo balye n’okunywa bongere okumanyagana okwongera okukuza obwa sseruganda mu masomero g’obusiraamu.
Battunse mu moaka endala omubadde okubaka, Volleyball, Basket ball n’ebirala, nazo zigenze okuggwa nga; Hamdan Islamic SS Nakifuma yeetisse eky’okubaka, Buziga Islamic Theological Institute n’etwala ekya bolleyblall, ate Qamar High School Bunamwaya neesinga mu Basket ball, Madiinah Islamic SS nebuukayo n’ebikopo bisatui mu kukubaganya ebirwoozo (debate)
Oluvannyuma omugenyi omukulu akwasizza abawanguzi ebikopo