Bungereza ewuttudde She Cranes mu za Vitality omulundi ogw'e 11

21st January 2024

BUNGEREZA ezzeemu okufuula She Cranes ttiimu ya Uganda ey’okubaka akagoma bwe yagikubye omulundi ogw’ekkumi n’ogumu

Bungereza ewuttudde She Cranes mu za Vitality omulundi ogw'e 11
NewVision Reporter
@NewVision
#Bungereza #Kubaka #Mupiira #Ggoolo #Wiini
95 views

Mu Vitality Netball Nations Cup

Australia 63-50 New Zealand

Bungereza 62-56 Uganda

Leero (Ssande)

New Zealand – Uganda (11:00)

Bungereza – Australia (1:00)

BUNGEREZA ezzeemu okufuula She Cranes ttiimu ya Uganda ey’okubaka akagoma bwe yagikubye omulundi ogw’ekkumi n’ogumu ogw’omuddiring’anwa bukya batandika kusisinkana mu World Cup ya 1979.

 

Eggulo ku Lwomukaaga nga January 20, 2024, She Cranes yagezezzaako okwerwanako naye ng’esiwa nsaano ku mazzi bwe baagikubye obugoba 62 ku 56 mu nsiike eyasoose ey’empaka za Vitality Netball Nations Cup eziyindira mu kibuga London mu Bulaaya.

Baabadde ku kisaawe kya OVO Arena mu Wembley ekya Bungereza ng’omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa wamu n’omumyuka we Peace Proscovia bagezaako okukyusa ebyafaayo bya Uganda ku Bungereza mu kubaka naye ne bigaana.

Mu World Cup 1979, Bungereza yakuba Uganda 57-24, yabaddamu mu z’omukwano 2018 obugoba 65-53, 50-46 ne 66-37, Commonwealth 2018 Bungereza (56-35), World cup 2019 Bungereza (64-32), mu z’omukwano 2022, Bungereza (60-51, 64-51, 53-45), Commonwealth (2022), Bungereza (56-35) n’eza Vitality 2024, Bungereza (62-56).

“Bungereza tugenda tugikenenya endusu, sizoni ntono mu maaso, tujja kugiggyako obuwanguzi era ku luno batukubidde ku kusaliriza kwa baddiifiri ababadde batusaliriza okuli n’okugoba omuzannyi waffe Christine Nakitto ku kisaawe mu bintu ebitaliimu,” Mugerwa bwe yannyonnyodde.

Leero ku Ssande nga January 21, 2024, She Cranes ekomyewo mu nsiike ng’ettunka ne New Zealand mu nsiike ey’okubiri mu mpaka zino (Vitality Netball Nations Cup).

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.