Anthony Bongole yeewangulidde obutendesi obw'ekiseera mu Express oluvannyuma lwa Morley Byekwaso okukwatibwa ku nkoona.
Bongole, abadde omumyuka owookubiri owa Morley, yatuukiddwaako oluvannyuma lw'omumyuka asooka, Edward Kaziba, okuzira omulimu ng'agamba nti abeera nga ayeekedde mukama we (Morley).
Express yatendekeddwa eggulo e Nakivubo nga Bongole ye yagibadde mu mitambo.
Yaakwabika ne UPPC nga December 3 mu liigi ya babinywera.
Express yasoose kutuukirira mutendesi wa St. Mary’s Kitende, Hassan Zungu n’agyepena. Ono yakuziddwa kati ali ne ku Vipers